×

Luganda Bible 2003

Isaaya 17

1
Bino bye byalangibwa ku Damasiko: “Laba Damasiko kiggyiddwawo, tekikyali kibuga era kinaabanga ntuumu ey'ebimenyeddwamenyeddwa.
2
Ebibuga bya Aroweri birekeddwawo ttayo. Binaabeeranga malundiro ga ndiga na mbuzi, mwe zinaagalamiranga awatali azikanga.
3
Abeefurayimu banaabanga tebakyaliko bigo bibataasa, nga ne Damasiko tekikyalina bwakabaka. Abasiriya abaliwonawo nabo baliba mu kuswala ng'ab'omu Yisirayeli. Mukama Nnannyinimagye, bw'atyo bw'agambye.
4
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera, ne mu kifo ky'okugejja, n'akogga.
5
Yisirayeli eriba ng'ennimiro esaliddwamu eŋŋaano ekunguddwa. Eriba nkalu ng'omusiri gw'omu Kiwonvu Refayiimu, gwe bamaze okulondamu ebirimba.
6
Naye mu Yisirayeli mulisigalamu abantu abatonotono ng'omuzayiti ogunogeddwako ebibala bwe gusigazaako ebibiri oba ebisatu waggulu ku busongezo obukomererayo, n'ebibala ebina oba ebitaano mu matabi gaagwo amaziyivu. Mukama, Katonda wa Yisirayeli, bw'atyo bw'agambye.”
7
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abantu balissa omutima ku Mutonzi waabwe, amaaso bagakyusize eri Omutuukirivu wa Yisirayeli.
8
Baliba tebakyesiga zaalutaari ze beekolera n'emikono gyabwe, oba okwesiga ebirala bye bakoze, oba ebifaananyi bya lubaale Asera wadde zaalutaari kwe banyookereza obubaane.
9
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ebibuga eby'amaanyi biriba ebifulukwa ng'ebiri mu bibira n'ebiri ku ntikko z'ensozi, ebyayabulirwa ng'Abayisirayeli batuuka, era birizika ne bifuuka matongo.
10
Ggwe Yisirayeli, weerabidde Katonda akuwonya, era ali ng'olwazi olugumu mwe weewogoma, kyovudde osimba emiti egisanyusa n'ogiwongera balubaale.
11
Naye ne bwe ginaakulirawo ne gimulisizaawo ku makya g'olunaku lw'ogisimbiddeko, era tewaliba bikungulwa, wabula okunakuwala era n'okukungubaga.
12
Ha, wulira okuyira kw'abantu abangi, kuli ng'okuyira kw'ennyanja! Wulira okuwuluguma kw'amawanga, kuli ng'okuwuluguma kw'amayengo ag'amaanyi!
13
Amawanga gawuluguma ng'amayengo g'amazzi amangi. Kyokka Katonda aligakomako, ne gaddukira wala. Galiba ng'ebisusunku ku lusozi ebikuŋŋunsibwa kibuyaga, era galiba ng'enfuufu mu mbuyaga ey'akazimu.
14
Balireeta entiisa akawungeezi, naye we bulikeerera, baliba tebakyaliwo. Ogwo gwe guliba omugabo gw'abo abatunyaga, era ye eriba empeera y'abo abatubbako ebyaffe.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes