Ekigo kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, n'obwakabaka mu Ddamasiko bulivaawo, n'abalifikkawo mu Busuli; baliba ng'ekitiibwa ky'abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama ow'eggye.
Naye mulisigalamu ebirondebwa, ng'okukubibwa kw'omuzeyituuni bwe kubeera, ebibala ebibiri oba bisatu (3) waggulu ku busongezo obukomererayo, bina oba bitaano (5) ku busongezo bw'omuti omugimu, bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri.
So tebalirowooza ku byoto byabwe, omulimu gw'emikono gyabwe, so tebalirowooza kw'ebyo bye bakola n'engalo zaabwe, oba ku Baasera oba ebyoto kwe bootereza obubane.