×

Luganda Bible

Isaaya 18

1
Woowe, ensi ey'okukwakwaya kw'ebiwaawaatiro, eri emitala w'emigga gya Kuusi:
2
etuma ababaka ku nnyanja mu bibaya ku mazzi, ng'eyogera nti Mugende, mmwe ababaka abangu, eri eggwanga eggwanvu era eggweweevu, eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga erigera era eririnnyiririra ddala, ensi yaabwe emigga gigisazeemu!
3
Mmwe mwenna abatuula mu nsi, nammwe ababeera ku ttaka ly'ensi, ebendera bw'ewanikibwanga ku nsozi, mulabanga; era ekkondeere bwe lifuuyibwanga, muwuliranga.
4
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Ndisirika, era ndiraba nga nnyima mu kifo kyange we ntudde; ng'olubugumu olutemagana mu musana, ng'ekire ky'omusulo mu lubugumu lw'omu biro eby'okukunguliramu.
5
Kubanga okukungula nga tekunnabaawo, okumulisa nga kuwedde, n'ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengera, aliwawaagula obutabi n'ebiwabyo, n'amatabi agalanda aligaggyawo n'agatema.
6
Galirekerwa wamu ennyonyi ez'amaddu ez'oku nsozi n'ensolo ez'ensi: era ennyonyi ez'amaddu zirigatuulako mu kyeya, n'ensolo zonna ez'ensi zirigabeerako nu ttoggo.
7
Mu biro ebyo ekirabo kirireeterwa Mukama ow'eggye eky'abantu abawanvu era abaweweeu, n'okuva eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga erigera era eririnnyiririra ddala, ensi yaabwe emigga gigisazeemu, eri ekifo eky'erinnya lya Mukama ow'eggye, olusozi Sayuuni.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes