×

Luganda Bible 2003

Isaaya 18

1
Emitala w'emigga gy'e Kuusi, waaliwo ensi ewulirwamu okukubagana kw'ebiwaawaatiro.
2
Ensi eyo etuma ababaka ku nnyanja bayite ku mazzi mu bibaya, ng'egamba nti: “Mugende mu bwangu mu nsi eyawulwamu emigga, mutwalire obubaka abantu abawanvu era ab'olususu oluweweevu, abaakuba ensi yonna entiisa kasookedde babaawo n'okutuusa kati. Obubaka bugamba nti:
3
‘Mwenna abatuuze b'omu nsi, abantu abali mu buli ggwanga, mutunulanga ne mulaba nga bbendera esimbiddwa ku nsozi, ng'ekkondeere lifuuyiddwa.’
4
Kubanga Mukama aŋŋambye nti: ‘Mu kifo kyange mwe mpummulira, ndisirika ne ntunuulira, nga ndi ng'ebbugumu eribuubuukira mu kasana akeememula, era ng'omusulo ogusitukira mu lubugumu lw'obudde obw'amakungula.’
5
Alizikiriza abaserikale b'abantu abo nga tebannalumba, nga bwe kyandikoleddwa ku muti ng'okumulisa kuwedde, n'ebimuli nga bifuuse ebibala ebyengedde, naye okukungula nga tekunnabaawo, oli n'atema amatabi n'agawanulayo yonna gye galandidde.
6
Emirambo gyabwe girirekebwa awo okuvaabirwa ebinyonyi eby'oku nsozi n'ebisolo ebikambwe ebiruvu. Ebinyonyi birigyeriira mu kyeya, n'ebisolo ne bigyekavvulira mu biseera eby'obutiti.
7
Abantu abo abawanvu ab'olususu oluweweevu abaakuba ensi yonna entiisa kasookedde babaawo n'okutuusa kati, era abalina ensi eyawulwamu emigga, ekiseera kirituuka ne baleetera ekirabo Mukama Nnannyinimagye mu kifo kye bamusinzizaamu ku Lusozi Siyooni.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes