EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Zikusanze, ggwe ensi ey'ebiwaawaatiro ebikwakwaya, eri emitala w'emigga gya Kuusi; |
| 2 |
| etuma ababaka ku Kiyira, ne bagendera mu bibaya ku mazzi! Mugende, mmwe ababaka abangu, eri eggwanga eririna abantu abawanvu ab'emibiri emiweweevu, eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga ery'amaanyi era eriwangula amalala, ensi eyawulwamu emigga. |
| 3 |
| Mmwe mwenna abatuula mu nsi, nammwe ababeera ku ttaka ly'ensi, ebendera bw'ewanikibwanga ku nsozi, mutunulanga, era ekkondeere bwe lifuuyibwanga, muwuliranga. |
| 4 |
| Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti, “Ndisirika, era ndiraba nga nnyima mu kifo kyange we ntudde; ng'olubugumu olutemagana mu musana, ng'ekire ky'omusulo mu lubugumu olw'omu biro eby'amakungula.” |
| 5 |
| Kubanga okukungula nga tekunnabaawo, okumulisa nga kuwedde, n'ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengera, aliwawaagula obutabi n'ebiwabyo, n'amatabi agalanda aligaggyawo n'agatema. |
| 6 |
| Gonna galirekerwa ennyonyi ez'amaddu ez'oku nsozi n'ensolo ez'ensi, era ennyonyi ez'amaddu zirigatuulako mu kyeya, n'ensolo zonna ez'ensi zirigabeerako mu ttoggo. |
| 7 |
| Mu biro ebyo ekirabo kirireeterwa Mukama ow'eggye okuva mu bantu abawanvu ab'emibiri emiweweevu, n'okuva eri abantu abaabanga ab'entiisa kasookedde babeerawo na guno gujwa; eggwanga ery'amaanyi era eriwangula amalala, ensi eyawulwamu emigga, ku lusozi Sayuuni, ekifo eky'erinnya lya Mukama ow'eggye. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/isaiah/018.mp3
66
18