×

Luganda Bible 2003

Isaaya 19

1
Bino bye byalangibwa ku Misiri. Laba Mukama yeebagadde ekire ekidduka emisinde, ajja e Misiri. Ebifaananyi bya balubaale baayo, birikankanira mu maaso ge, era Abamisiri baliggwaamu omutima.
2
Mukama agamba nti: “Ndireeta olutalo mu Bamisiri buli muntu n'alwana ne muganda we era buli omu ne muliraanwa we, ekibuga ne kirwana n'ekibuga kinnaakyo, ne bakabaka ne bavuganya ku buyinza.
3
Nditabulatabula ebyo Abamisiri bye bategeka, ne mbamalamu amaanyi. Balyebuuza ku balubaale ne ku basamize n'abalogo, ne ku boogererwako emizimu.
4
Ndiwaayo Abamisiri ne bafugibwa omufuzi musibiramubbwa; kabaka omukambwe alibafuga. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze ŋŋambye.”
5
Amazzi ga Kiyira galikendeera, mpolampola omugga ogwo gulikalira.
6
N'emikutu gyagwo giriwunya nga giggwaamu mpola amazzi, ebitoogo n'ebisaalu ne biwotoka.
7
Omuddo n'ebisigibwa byonna ku lubalama lw'omugga ogwo, biriwotoka ne bifa, ne bisaanawo ne bivaawo.
8
Era abaloba n'abavubiramu, balinakuwala ne bakaaba. Amalobo n'obutimba bye balina, biriba tebikyabagasa.
9
Abakola ebirukibwa mu bugoogwa, n'abatunga engoye eza ppamba, biribabula ne basoberwa.
10
Era n'empagi kwe balukira zirimenyebwa zonna, era abo abakolera empeera balibulwa olwo essuubi.
11
Abakulembeze b'e Zowani, gabaweddeko amagezi. Abawabuzi ba Kabaka w'e Misiri bamubuulira bimuwubisa. Kale bamugamba batya nti ddala bo be basika ab'abawi b'amagezi, n'aba bassekabaka ab'edda?
12
Kale kabaka w'e Misiri, baluwa abakuwa amagezi? Kaakano oba bamanyi, bakubuulire Nze Mukama Nnannyinimagye kye nteeseza Misiri.
13
Abakulembeze b'e Zowani gabaweddeko amagezi, n'abakulira Menfiisi nabo bawubisiddwa. Misiri abandigiwabudde, kati baabo bagikyamizza!
14
Mukama abataddemu omwoyo ogw'okuwubisawubisa, ne bawubisa Misiri mu bikolebwa byonna, n'etaga ng'omutamiivu avuyira mu by'asesemye!
15
Kati mu nsi ya Misiri temuli mukulu oba muto, mukulembeze oba afugibwa, akola ebinaagigasa.
16
Ekiseera kirituuka, Abamisiri ne batya ng'abakazi. Balitya ne bakankana, bwe baliraba nga Mukama Nnannyinimagye agolodde omukono gwe okubabonereza.
17
Eggwanga lya Buyudaaya lirikwasa Abamisiri entiisa. Buli awulira nga balyogerako anaatyanga, olw'ebyo Mukama Nnannyinimagye by'ategese okubatuusaako.
18
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, olulimi Olukanaani lulyogerwa mu bibuga bya Misiri bitaano, ng'abantu baayo balayira Mukama Nnannyinimagye. Ekibuga ekimu ku byo kiriyitibwa “Kibuga kya Kuzikirira.”
19
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, mu nsi y'e Misiri mulibaamu alutaari ewongereddwa Mukama, era ku nsalo y'ensi eyo kulibaako empagi ey'ejjinja emuwongereddwa.
20
Obwo buliba bubonero era obujulizi obulaga Mukama Nnannyinimagye nga bw'ali mu nsi y'e Misiri. Era Abamisiri bwe balikoowoola Mukama nga banyigirizibwa, alibatumira omuyambi ow'amaanyi alibataasa, n'abawonya.
21
Mukama alyemanyisa mu Bamisiri, ne bamumanya mu kiseera ekyo, ne bamusinza, ne bawaayo gy'ali ebitambiro n'ekitone. Balibaako ne bye bamusuubiza nga beeyama, era bye beeyamye, balibituukiriza.
22
Mukama alibonereza Abamisiri, kyokka ate b'abonerezza alibawonya. Balikyukira gy'ali, ne bamwegayirira, n'abawonya.
23
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, walibaawo oluguudo oluva mu Misiri okugenda mu Assiriya. Abassiriya balijja mu Misiri, n'Abamisiri ne bagenda mu Assiriya, era Abamisiri n'Abassiriya balisinziza wamu Mukama.
24
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Yisirayeli aliba ku lubu lwe lumu ne Misiri era ne Assiriya, era amawanga ago gonsatule, galiweesa ensi yonna omukisa,
25
kubanga Mukama Nnannyinimagye aligawa omukisa ng'agamba nti: “Misiri Eggwanga lyange, ne Assiriya Nze Nzennyini lye natonda, ne Yisirayeli lye neeroboza okuba eryange, gaweebwe omukisa.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes