Awo olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, olusozi olw'ennyumba ya Mukama lulinywezebwa ku ntikko y'ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo.
Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.
Era aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.
Kubanga waleka abantu bo ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde empisa ezaava ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era bakubagana mu ngalo n'abaana b'ab'amawanga.
Era ensi yaabwe ejjudde effeeza n'ezaabu, so n'obugagga bwabwe tebuliiko gye bukoma; era ensi yaabwe ejjudde embalaasi, so n'amagaali gaabwe tegaliiko gye gakoma.
Era abantu baligenda mu mpuku ez'amayinja, ne mu bunnya obw'ettaka, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.
bagende mu mpuku ez'amayinja, ne mu nkonko ez'amayinja amaatifu, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.