×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Isaaya 2

1
Ekigambo Isaaya mutabani wa Amozi kye yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.
2
Awo olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, olusozi olw'ennyumba ennyumba ya Mukama luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo.
3
Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti, Mujje, twambuke eri lusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo, era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze; kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.
4
Era aliramula mu amawanga, era alinenya abantu bangi; era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo: eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.
5
Mmwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu musana gwa Mukama.
6
Kubanga waleka abantu bo, ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde abasawo okuva ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era bakuba mu ngalo ne bannamawanga.
7
Era ensi yaabwe ejjudde effeeza n'ezaabu, so n'obugagga bwabwe tebuliiko kkomo. Era ensi yaabwe ejjudde embalaasi, so n'amagaali gaabwe tegaliiko kkomo.
8
Era ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi; basinza omulimu gw'emikono gyabwe bo, engalo zaabwe bo gwe zaakola.
9
Omukopi n'avuunama, n'omukulu yeetoowaza: kyova olema okubasonyiwa.
10
Yingira mu lwazi, weekweke mu nfuufu, mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe.
11
Okulalambala kw'abantu kuliwanulibwa, n'amalala g'abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.
12
Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow'eggye eri byonna ebyekuza ebirina amalala, n'eri byonna ebigulumizibwa era biriwanulibwa.
13
N'eri enfugo zonna eze Lebanooni, empavu ezigulumizibwa, n'eri emivule gyonna egy'e Basani.
14
n'eri ensozi zonna Empavu, n'eri obusozi bwonna obugulumivu;
15
n'eri buli kigo ekiwanvu, na buli bbugwe omugumu.
16
n'eri ebyombo byonna eby'e Talusiisi, n'eri ebifaananyi byonna ebirungi.
17
Era okugulumizibwa kw'abantu kulikutamizibwa, n'amalala g'abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.
18
N'ebifaananyi biriggweerawo ddala.
19
Era abantu baligenda mu mpuku ez'amayinja, ne mu bunnya obw'ettaka, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.
20
Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala ebifaananyi byabwe eby'effeeza n'ebifaananyi byabwe eby'ezaabu, bye beekolera okusinzanga, eri emmese ne binyira,
21
bagende mu mpuku ez'amayinja, ne mu nkonko ez'amayinja amaatifu, okuva mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.
22
Muleke abantu, omukka gwabwe guli mu nnyindo zaabwe, kiki ennyo kye bali?
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes