1
Omugugu ogw'eddungu ery'ennyanja. Nga kibuyaga ow'omu bukiikaddyo bw'ayita amangu, bwe watyo bwe wava mu ddungu, mu nsi ey'entiisa.
2
Okwolesebwa okuzibu kumbuuliddwa; omulyazaamaanyi alyazaamaanya, n'omunyazi anyaga. Yambuka, ggwe Eramu, zingiza, ggwe Obumeedi; okusinda kwonna kwe yaleeta, nkukomezza.
3
Ekiwato kyange kyekivudde kijjula okubalagalwa; obulumi bunkutte ng'obulumi bw'omukazi alumwa okuzaala; nnyoleddwa n'okuyinza ne ssiyinza kuwulira; nkeŋŋentereddwa n'okuyinza ne ssiyinza kulaba.
4
Omutima gwange guwejjawejja, okwesisiwala kunkanze, ekiro kye nnali neegomba kifuuse gye ndi kukankana.
5
Bategeka emmeeza, bassaawo abakuumi, balya, banywa. Mugolokoke, mmwe abakulu, musiige amafuta ku ngabo.
6
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti, “Genda osseewo omukuumi; ategeeze ky'anaalaba.
7
era bw'alabanga ekitongole, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu, ekibiina ky'endogoyi, ekibiina ky'eŋŋamira, awuliranga nnyo nga yeetegereza bulungi.”
8
Omukuumi n'ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka nti, “Ayi Mukama, bulijjo emisana nnyimirira ku kigo awakuumirwa, era nkeesa obudde nga ndi ku mulimu gwange.
9
Era, laba, wajja ekitongole ky'abantu, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu.” N'addamu n'ayogera nti, “Babbulooni kigudde, kigudde; n'ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo bibetenteddwa wansi ku ttaka.”
10
Woowe ggwe okuwuula kwange era eŋŋaano ey'omu gguuliro lyange, ebyo bye mpulidde ebivudde eri Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, mbibabuulidde.
11
Omugugu gwa Duuma. Waliwo ampita ng'ayima ku Seyiri nti, “Omukuumi, eby'ekiro bitya? Omukuumi, eby'ekiro bitya?”
12
Omukuumi n'ayogera nti, “Bulikya era buliziba. bwe mwagala okubuuza, mubuuze, mukyuke mujje.”
13
Omugugu oguli ku Buwalabu. Mu bisaka bya Buwalabu mwe mulisula, mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja.
14
Oyo eyalumwa ennyonta baamuleetere amazzi; abatuula mu nsi ey'e Teema baasisinkana abadduse n'emmere yaabwe.
15
Kubanga badduka ebitala, ekitala ekisowole, n'omutego ogunaanuddwa, akabi k'olutalo.
16
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti, “Omwaka nga tegunnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kiriggwaawo,
17
n'abalifikkawo ku muwendo gw'abalasi, abasajja ab'amaanyi ab'oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.