|
| 1 |
|
| Bino bye byalangibwa ku Tiiro: Mukube ebiwoobe mmwe emmeeri z'e Tarusiisi! Ekibuga kyammwe Tiiro kizikiridde: tewakyali mayumba na mwalo. Amawulire ago gabatuuseeko, nga muva mu nsi y'e Kittimu. 11:21-22; Luk 10:13-14 |
|
| 2 |
|
| Musiriikirire olw'ennaku mmwe abatuuze b'oku lubalama lw'ennyanja, mmwe abasuubuzi b'e Sidoni ekigaggawazibwa abantu abawunguka ennyanja. |
|
| 3 |
|
| Eŋŋaano y'e Misiri era ekibala kya Kiyira gye bayisa ku nnyanja, y'ekireetera amagoba nga kisuubulagana n'amawanga. |
|
| 4 |
|
| Kwatibwa ensonyi ggwe Sidoni, ekibuga ky'ennyanja ekigumu, kubanga weegaanye nti: “Sirumwanga kuzaala era sizaalanga ku mwana. Siyonsanga mwana wa bulenzi, wadde okwola ow'obuwala.” |
|
| 5 |
|
| Amawulire agafa ku Tiiro bwe galituuka e Misiri, abaayo balinakuwala nnyo. |
|
| 6 |
|
| Mukube ebiwoobe mmwe abatuuze b'oku kizinga, mugende e Tarusiisi. |
|
| 7 |
|
| Kino kye kibuga kyammwe ekyabasanyusanga, ekyazimbibwa mu mirembe egy'edda? Kye kyaweerezanga abatuuze baakyo bagende basenge mu bifo eby'ewala? |
|
| 8 |
|
| Ani yategeka okukola ebyo ku Tiiro ekibuga ekisuza bakabaka, nga n'abasuubuzi baamu baakitiibwa mu nsi? |
|
| 9 |
|
| Mukama Nnannyinimagye ye yakitegeka amalewo okwekuza okuli mu bitiibwa byonna, era alage bw'anyooma abeebitiibwa bonna ku nsi. |
|
| 10 |
|
| Mwanjaale mu nsi yammwe ng'Omugga Kiyira mmwe abatuuze b'e Tarusiisi. Tewakyaliwo abaziyiza. |
|
| 11 |
|
| Mukama agolodde omukono gwe ku nnyanja, n'ayuuguumya obwakabaka. Alagidde ebigo ebigumu eby'Ekibuga Kanaani bizikirizibwe. |
|
| 12 |
|
| Kaakano agambye nti: “Ggwe Ekibuga Sidoni okusanyuka kwo kukomye, n'abantu bo banyigirizibwa. Ne bwe banaddukira e Kittimu, nayo tebalifuna kiwummulo.” |
|
| 13 |
|
| Baali Bakaludaaya sso si Bassiriya abafuula Tiiro eky'ensolo ez'omu nsiko. Baakizimbako eminaala okukizingiza, ne bamenya amayumba gaamu, ne bazikiriza byonna ebirimu. |
|
| 14 |
|
| Mukube ebiwoobe mmwe emmeeri z'e Tarusiisi, kubanga ekibuga kyammwe ekigumu kizikiriziddwa. |
|
| 15 |
|
| Ekiseera kijja kutuuka, Tiiro kyerabirwe okumala emyaka nsanvu, ng'egya kabaka omu gy'awangaala. Ensanvu egyo bwe giriggwaako, ebiribeera mu Tiiro, biriba ng'ebiri mu luyimba oluyimbibwa ku malaaya: |
|
| 16 |
|
| “Kwata ennanga yo oyiteeyite mu kibuga ng'oli nayo, ggwe malaaya eyeerabirwa, ogikube bulungi nga bw'oyimba oluyimba oluseeneekerevu, balyoke bakujjukire.” |
|
| 17 |
|
| Emyaka ensanvu bwe giriggwaako, Mukama alireka Tiiro kidde ku bye kyakolanga edda. Kiriddamu okusuubulagana n'obwakabaka bwonna mu nsi, yonna gye busaasaanidde. |
|
| 18 |
|
| Bye kirisuubula byonna era n'amagoba, biriwongerwa Mukama. Tekiribyetuumako, wadde okubyeterekera mu mawanika, naye abasinza Mukama be balibikozesa okugula emmere gye balya ebamala, n'engoye ennungi. |
|
|
|
|