×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Isaaya 23

1
Omugugu gwa Ttuulo. Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi, kubanga kifuuse matongo, temukyali nnyumba oba mwalo, kibabikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu.
2
Musirike, mmwe abatuula ku lubalama lw'ennyanja, mmwe abasuubuzi b'e Sidoni; abawunguka ennyanja kwe mugaggawalidde.
3
Era ku mazzi amangi kwajjirako ensigo za Sikoli, n'ebikungulwa bya Kiyira, bye byali amagoba ge; era oyo ye yali akatale k'amawanga.
4
Kwatibwa ensonyi, ggwe Zidoni: kubanga ennyanja eyogedde, ekigo eky'ennyanja, nti, “Sinnalumwa kuzaala, so sinnazaala, so sinnayonsa balenzi, so sinnalera bawala.”
5
Ebigambo bwe birituuka e Misiri, balinakuwalira nnyo ebigambo eby'e Ttuulo.
6
Muwunguke mugende e Talusiisi; mukube ebiwoobe, mmwe abatuula ku lubalama lw'ennyanja.
7
Kino kye kibuga kyammwe eky'essanyu ekimaze emyaka emingi era ebigere byakyo ebyakitwalanga okubudama mu bitundu eby'ewala?
8
Ani eyateekateeka kino ku Ttuulo, ekibuga ekitikkira engule, abasuubuzi baamu balangira, abatunzi baamu be b'ekitiibwa mu nsi?
9
Mukama ow'eggye ye akiteesezza, okuvumisa amalala ag'ekitiibwa kyonna, okunyoomesa ab'ekitiibwa bonna ab'omu nsi.
10
Yita mu nsi yo nga Kiyira, ggwe muwala wa Talusiisi; tewakyali lukoba lukusiba.
11
Agolodde omukono gwe ku nnyanja, anyeenyezza obwakabaka, Mukama alagidde eby'e Kanani, okuzikiriza ebigo byamu.
12
N'ayogera nti, “Tokyaddayo kusanyuka, ggwe muwala wa Sidoni ajoogebwa; golokoka, owunguke ogende e Kittimu; era n'eyo toliba na kuwummula.”
13
Laba, ensi ey'Abakaludaaya; eggwanga lino terikyaliwo; Omwasuli agifudde ey'ensolo ez'omu ddungu. Baazimba eminaala gyabwe, ne bamenya ebigo byabwe, ne baasuula amayumba gaamu era n'abazikiriza.
14
Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi, kubanga ekigo kyammwe kizikiriziddwa.
15
Awo olulituuka ku lunaku luli Ttuulo kiryerabirirwa emyaka nsanvu (70), ng'ennaku za kabaka omu bwe ziriba: emyaka nsanvu (70) nga giweddeko ebiriba ku Ttuulo biriba ng'ebiri mu luyimba olw'omwenzi.
16
Twala ennanga otambuletambule mu kibuga, ggwe omwenzi eyeerabirwa; kuba bulungi ennanga, oyimbe ennyimba nnyingi, olyoke ojjukirwe.
17
Awo olulituuka emyaka nsanvu (70) nga giweddeko, Mukama alijjira Ttuulo, naye aliddira empeera ye, era alyenda n'obwakabaka bwonna obw'ensi obusaasaanidde wonna.
18
N'ebibye eby'obuguzi n'empeera ye biriba bitukuvu eri Mukama, tebiriterekebwa so tebiriwanikibwa; kubanga ebibye eby'obuguzi biriba by'abo abatuula mu maaso ga Mukama, okulyanga okukkuta, n'okuba ebyambalo ebirungi.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes