×

Luganda Bible 2003

Isaaya 25

1
Ayi Mukama, ggwe Katonda wange. Nnaakugulumizanga, nnaatenderezanga erinnya lyo, kubanga okoze ebyamagero. Otuukirizza n'obwesigwa n'amazima ebyo bye wateesa edda.
2
Kubanga ekibuga okifudde matongo. Omenyewo ebigo byakyo ebigumu. Embiri z'abalabe baffe tebikyali bibuga era teziriddamu kuzimbibwa.
3
Kale abantu ab'amaanyi banaakussangamu ekitiibwa, n'ebibuga by'amawanga amakambwe tebiiremenga kukutya.
4
Kubanga oli kigo ekigumu abantu abanaku n'abaavu mwe bafunira ekiddukiro, ne bawonera omwo kibuyaga; ng'era kye kisiikirize mwe bawonera ebbugumu, kubanga obusungu bw'abakambwe buli ng'enkuba ekuba ku bisenge ng'erimu ne kibuyaga,
5
era buli ng'ebbugumu mu nsi enkalu. Naye ggwe, ayi Mukama, osirisizza abalabe baffe. Okkakkanya okuleekaana kw'abakambwe ng'ekire bwe kiweweeza ebbugumu ery'omu ttuntu.
6
Ku Lusozi luno Siyooni Mukama Nnannyinimagye alifumbira amawanga gonna ekijjulo eky'ebyassava omuli ebirungo, era eky'omwenge omuka omuwoomu.
7
Alizikiririza ku lusozi luno ennaku esaanikidde abantu, era ebuutikidde amawanga gonna.
8
Mukama Afugabyonna, alizikiriza okufa kuggweewo, obutaddawo ennaku zonna. Alisangula amaziga mu maaso gonna, era alimalawo obuswavu bw'abantu be bwe baalina mu nsi yonna. Mukama yennyini ye ayogedde.
9
Kale bwe kirituukirira, baligamba nti: “Mulabe, Katonda waffe wuuno. Tubadde tumulindirira, era anaatuwonya. Ye ye Mukama. Tubadde tumulindirira, era kaakano tusanyuka, era tujaguza, kubanga atuwonyezza.”
10
Mukama alikuuma Olusozi luno Siyooni, naye Abamowaabu balirinnyirirwa ng'ebisubi bwe birinnyirirwa ku ntuumu y'obusa okukolamu ebigimisa. Zef 2:8-11
11
Balyanjuluza emikono gyabwe, ng'omuntu awuga bw'agyanjuluza, kyokka Mukama alibamalamu olwetumbu lwabwe, emikono gyabwe ne gibulwa ageeyamba.
12
Alizikiriza ebigo byabwe ebigumu era eby'ebisenge ebigulumivu, abisuule wansi ku ttaka okutuukira ddala mu nfuufu.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes