|
| 1 |
|
| Olunaku lulituuka, oluyimba luno ne luyimbirwa mu Buyudaaya nti: “Tulina ekibuga eky'amaanyi. Katonda yennyini ye yakiteekako ebigo n'enkomera ebikitaasa. |
|
| 2 |
|
| Mugguleewo emiryango gyakyo ab'eggwanga eryesigwa, era abakola ebituufu, bayingire. |
|
| 3 |
|
| Ayi Mukama, okuuma mu mirembe emijjuvu oyo asuubira mu ggwe, kubanga akwesiga. |
|
| 4 |
|
| Mwesigenga Mukama ennaku zonna kubanga Mukama lwe lwazi omwewogomwa emirembe gyonna. |
|
| 5 |
|
| Atoowazizza abo abaali beegulumiza. Azikirizza ekibuga kyabwe ekigumu, akissizza wansi ku ttaka, ne kituukira ddala mu nfuufu. |
|
| 6 |
|
| Kaakano kirinnyirirwa bigere bya baavu n'eby'abali mu bwetaavu. |
|
| 7 |
|
| “Ekkubo ly'abeesimbu ggolokofu, era ggwe ayi Mukama nnannyini bugolokofu, ggwe olibaluŋŋamya. |
|
| 8 |
|
| Weewaawo ayi Mukama, tugoberera ky'oyagala, ne tusuubira mu ggwe. Era mu kukujjukira mwe tufunira bye twegomba. |
|
| 9 |
|
| Omutima gwange gukwegomba ekiro, omwoyo gwange ne gwewaayo okukunoonya, kubanga bw'osala emisango mu nsi abatuuze baamu lwe bayiga obwenkanya. |
|
| 10 |
|
| Ababi ne bwe bakolerwa eby'ekisa, era tebayiga kukola bituufu. Ne mu nsi y'abantu abeesimbu era bakoleramu ebikyamu, ne batalaba bukulu bwa Mukama. |
|
| 11 |
|
| Ayi Mukama, omukono gwo ogugolola okubabonereza, naye tebalaba. Leka baswale era baboneebone. Bawe ekibonerezo ky'otegekedde abalabe bo. Balage bw'olumirwa abantu bo. |
|
| 12 |
|
| “Ayi Mukama, ggwe otuteerawo emirembe kubanga ne bye tukola, ggwe obisobozesa okulama. |
|
| 13 |
|
| Ayi Mukama Katonda waffe, tufugiddwako n'abalala abatali ggwe, naye ggwe wekka, ggwe tumanyi ng'Omufuzi waffe ow'oku ntikko. |
|
| 14 |
|
| Abo kaakano bafudde, tebakyali balamu; bafuuse bagenzi era tebakyadda, kubanga wababonereza n'obazikiriza, era tewaliba abajjukira. |
|
| 15 |
|
| Ogaziyizza Eggwanga lyaffe, ayi Mukama oligaziyizza; ogaziyizza ensalo zaalyo zonna, ekyo ne kikwongerako okuweebwa ekitiibwa. |
|
| 16 |
|
| Ayi Mukama, abantu bo bwe baalaba ennaku, ne bajja gy'oli; bwe wababonereza, ne bakuwanjagira. |
|
| 17 |
|
| Ng'omukazi ali olubuto bw'alumwa ebisa n'akaaba ng'ebiseera bye eby'okuzaala bituuse, naffe bwe tutyo, ayi Mukama, bwe twabanga mu maaso go. |
|
| 18 |
|
| Twali lubuto, ne tulumwa okuzaala, naye tewali kye twazaala. Tetulina kya mugaso kye tukoledde nsi, n'abatuuze baamu tetubayigirizza kituufu. |
|
| 19 |
|
| “Abantu bo abafudde baliddamu obulamu, abafu abo balizuukira. Bonna abeebase mu nfuufu, balizuukuka ne bayimba olw'essanyu. Ng'amatondo g'omusulo gw'oku makya bwe gaweweeza ensi, ne Mukama bw'atyo bw'alizzaamu abo obulamu abaafa edda.” |
|
| 20 |
|
| Mujje mmwe abantu bange muyingire mu bisenge byammwe, mweggalire okumala akaseera, okutuusa obusungu bwa Katonda lwe buliggwaawo. |
|
| 21 |
|
| Kubanga Mukama wuuyo avudde mu ggulu gy'abeera n'ajja okubonereza abantu ku nsi, olw'ebibi byabwe. Obutemu obwakolebwa ku nsi mu nkukutu bulimanyibwa mu lwatu. Ettaka teriryeyongera kukweka abo abattibwa. |
|
|
|
|