1
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alikozesa ekitala kye ekinene eky'amaanyi era eky'obwogi, okubonereza Lukwata ogusota ogwenyogootola, Lukwata ogusota oguzinga amakata, era alitta gugoonya ogubeera mu nnyanja.
2
Ku lunaku olwo, Mukama aligamba nti: “Mulabe ennimiro yange ennungi ey'emizabbibu. Mugiyimbire.
3
Ngikuuma era ngifukirira amazzi buli kaseera. Ngirabirira emisana n'ekiro, waleme kubaawo kintu na kimu kigyonoona.
4
Ndekedde awo okugisunguwalira. Singa gabadde maggwa na katazzamiti nga bye nnina okulwanyisa, nandibyokedde wamu byonna.
5
Naye oba ng'abalabe b'abantu bange baagala okubakuuma, batabagane nange. Weewaawo, batabagane nange.”
6
Mu biseera ebirijja, Abayisirayeli bazzukulu ba Yakobo, balisimba emirandira ng'omuti, balimulisa ne baanya, era balijjuza ensi yonna ebibala.
7
Yisirayeli, Mukama tagibonerezza nnyo na bukambwe, nga bw'abonerezza abalabe baayo, era yo tefiiriddwa bantu baayo bangi.
8
Mukama yabonereza abantu be ng'abawaŋŋangusa. Yabakuŋŋunsa ne kibuyaga we omukambwe, ava ebuvanjuba.
9
Abayisirayeli bwe balimenyaamenya alutaari za balubaale, amayinja gaazo ne bagasekulasekula ng'ennoni, alutaari ezo ne zitaddayo kwoterezebwako bubaane, era ne watasigalawo kabonero ka Asera, lubaale omukazi, olwo lwe balisonyiyibwa ebibi byabwe.
10
Ekibuga ekyabangako ebigo ebigumu kaakano kifuuse kifulukwa, matongo agalekeddwawo ng'eddungu. Lifuuse ddundiro, amagana mwe gawummulira, ne geeriira ku makoola g'emiti.
11
Amatabi g'emiti gyamu bwe galiwotoka, galiwogolwa, abakazi ne bagatyaba enku. Abantu nga bwe batalina magezi, tebalisaasirwa yabatonda, wadde okukwatirwa ekisa.
12
Olunaku olwo bwe lulituuka, Mukama alikuŋŋaanya abantu be Abayisirayeli okuva ku Mugga Ewufuraate, okutuuka ku kagga ak'oku nsalo n'e Misiri, ng'omuntu bw'akuŋŋunta eŋŋaano n'agyawula mu bisusunku.
13
Olunaku olwo bwe lulituuka, ekkondeere eddene lirifuuyibwa okuyita Abayisirayeli bonna ababadde banaatera okufiira mu nsi ya Assiriya, n'ababadde ababoole mu Misiri, ne bajja basinziza Mukama ku lusozi olutukuvu mu Yerusaalemu.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.