1
Obwakabaka bwa Yisirayeli obw'abeekuza era abatamiivu, nga zibusanze! Ekitiibwa kyabwe kiseebengeredde. Kiri ng'engule ez'ebimuli ebiwotose, eziri ku mitwe gy'abakulembeze baakyo abeemalidde mu kunywa omwenge.
2
Ddala Mukama alinawo ow'amaanyi era omuzira, anaatera okubalumba. Oyo ali nga kibuyaga alimu omuzira n'embuyaga ezikiriza, ali ng'amazzi amangi ag'amaanyi, agajja ne ganjaala ennyo. Bw'atyo alitalaaga ensi n'agizikiriza.
3
Okwekuza kw'abakulembeze abatamiivu kulirinnyirirwa n'ebigere.
4
Ekitiibwa ky'abakulembeze abo abatamiivu, ekiseebengerera, kiriggwaawo ng'ebibala by'emitiini ebisooka okwengera ng'ekyeya tekinnatuuka, ebinogebwa ne biriibwa amangu ddala nga byakengera.
5
Ekiseera kijja kutuuka Mukama Nnannyinimagye abe engule eyeekitiibwa era ennungi amakula, ey'abantu be abaliwonawo.
6
Aliwa omwoyo ogw'obwenkanya abalamuzi abasala emisango, era aliwa amaanyi abaserikale abataasa emiryango gy'ekibuga, okukitaasa mu lutalo.
7
Bakabona n'abalanzi nabo boonooneddwa omwenge: ebitamiiza bibawabizza, omwenge gubasaanyizzaawo. Batambula batagatta olw'obutamiivu, abalanzi ne batategeera bibalagibwa mu kulabikirwa, ne bakabona abatamidde ne batasala bulungi nsonga eziba zibaleeteddwa.
8
Emmeeza eziri we batudde zonna zijjudde bisesemye, tewakyali kifo kiyonjo.
9
Banneemulugunyiza nga bagamba nti: “Oyo ayigiriza ani? Era ani gw'ajja okubuulirira? Mpozzi asomese abo abato abaakava ku mabeere!
10
Kubanga ayigiriza kiragiro ku kiragiro, lunyiriri ku lunyiriri. Wano n'akuwaayo katono, era ne wali, katono.”
11
Oba tebaagala kuwulira bye ŋŋamba, Mukama alikozesa abagwira aboogera olulimi olulala, n'abategeeza ky'ayagala.
12
Yabagamba nti abo abakooye babawenga ekiwummulo, naye ne bagaana okuwulira.
13
Mukama kyaliva abayigiriza kiragiro ku kiragiro, lunyiriri ku lunyiriri, wano n'abawaayo katono, era ne wali katono, balyoke bagende bagwe kyabugazi bamenyeke, bategebwe, bakwasibwe.
14
Kale mmwe abanyoomi abafuga abantu bano ab'omu Yerusaalemu, muwulire, Mukama ky'agamba nti:
15
“Nga bwe mwewaanye nti mukoze endagaano n'olumbe, mutegeeraganye n'amagombe, era nti ekikangabwa ekyanjaala bwe kiriyita mu nsi tekiribatuukako mmwe, kubanga eby'obulimba bye mufudde ekiddukiro kyammwe era mwekwese wansi w'obulimba!”
16
Mukama Afugabyonna kyava agamba nti: “Mulabe, nteeka ejjinja mu Siyooni, ejjinja erimaze okugezesebwa, libe ejjinja ery'omu nsonda ery'omuwendo ennyo, erinywerezeddwa ddala wansi. Oyo eyeesiga ejjinja eryo taterebuka.
17
Obwenkanya bwe ndifuula olukoba olugera, n'obutuufu bwe buliba omuguwa ogutereeza.” Amayinja ag'omuzira galyerawo obulimba bwe mwewogomamu, n'amazzi galyanjaala ne gazikiriza ekifo kye mwekwekamu.
18
Endagaano yammwe gye mwakola n'okufa erimenyebwawo, n'okutegeeragana kwammwe kwe mwategeeragana n'amagombe, kulikoma. Ekikangabwa ekiryanjaala bwe kiriyita mu nsi, kirireka kibalinnyiridde wansi
19
Buli lwe kinaayitanga mu nsi, kinaabalinnyiriranga buli lukya, ka bube misana, ka bube kiro. Era buli bubaka obuva eri Katonda, bunaabanga bwa ntiisa nsa.
20
Muliba ng'omuntu asula ku kitanda ekimpi ky'atayinza kwegolorerako, nga n'ekyokwebikka kyakwo kifunda, tekimubunya.
21
Mukama alisituka n'alwana, nga bwe yalwana ku Lusozi Peraziimu. Alisunguwala nga bwe yasunguwala mu kiwonvu kye Gibiyoni, alyoke akole ky'ayagala okukola, akole omulimu gwe ogwewuunyisa era ebikolwa bye eby'amagero.
22
Kale okulabula temukunyooma, enjegere ezibasibye zireme kunywezebwa, kubanga mpulidde nga Mukama Nnannyinimagye Afugabyonna, amaliridde okusaanyaawo ensi eno.
23
Mutege amatu muwulire kye ŋŋamba, musseeyo omwoyo ku kye mbategeeza.
24
Omulimi bw'alima ennimiro ze nga yeetegekera okusiga, tazitegeka lutata. Obudde bwonna tabumala mu kukabala, na kukuba mavuunike, na kwanjala.
25
Bw'amala okuttaanya ettaka lyonna, asigamu ensigo ze z'ayagala: ng'ez'ebijanjaalo, soya, oba kasooli. Asiga eŋŋaano ne bbaale ng'abitegeka mu nnyiriri, ne ku nsalosalo y'ennimiro ze n'asimbako ebirime ebirala.
26
Amanya okukola omulimu gwe, kubanga Katonda we amuyigiriza.
27
Ebijanjaalo tebiwuulibwa na musekuzo muzito, kye kimu era ne kawo. Naye bakozesa muggo ogutaabisekulesekule.
28
N'eŋŋaano ey'emigaati tagiwuula ng'agibetenta, wabula agyegendereza, empeke ne zisigala nga nnamba.
29
Era ago gonna amagezi gava wa Mukama Nnannyinimagye, omuwi w'amagezi ow'ekitalo ategeka eby'amagezi ebyereere era bulijjo ebituukirira.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.