1
Katonda agamba nti: “Zikusanze ggwe, Ariyeeli, Yerusaalemu ekibuga Dawudi mwe yakuba ensiisira ye. Mugatte omwaka ku mwaka, n'embaga enkulu muleke zibeewo nga bwe ziddiriŋŋana,
2
olwo mbonereze Ariyeeli. Walibaawo okukaaba n'okunakuwala, era ekibuga ekyo kiriba ng'alutaari yange yennyini.
3
Ndikirumba ku buli ludda, ne nkisiisirako, era ne nkizimbako ekigo, ne nkizingiza enjuyi zonna.
4
Yerusaalemu, oliba ng'omuzimu ogufuba okwogera nga gusinziira wansi mu ttaka, eddoboozi lyo nga lya kaama, okuva eyo mu nfuufu.
5
“Naye ebbiina ly'abalabe bo lirifuumuulwa ng'enfuufu, n'ebibinja byabwe eby'entiisa birifuumuuka ng'ebisusunku, ate mu kaseera mpawekaaga.
6
Nze Mukama Nnannyinimagye ndikutaasa nga nkozesa okubwatuka n'okukankana kw'ensi, ne kibuyaga akunta, n'ennimi ez'omuliro.
7
Amagye g'amawanga gonna agalwanyisa ekibuga ky'alutaari ya Katonda, ne galumba ebigo byakyo ebigumu, ne gakiteganya bulala, galivaawo ng'ekirooto, oba ng'ebyefaanaanyirizibwa mu kiro.
8
Ng'omuyala bw'aloota ng'alya, n'azuukuka ng'enjala emuluma; oba ng'omuyonta bw'aloota ng'anywa, kyokka w'azuukukira mu tulo ng'ennyonta emuli bubi, azirika, ng'emukazizza n'emimiro, n'amagye gonna agakuŋŋaana okulwanyisa Olusozi Siyooni nago bwe galiba bwe gatyo.”
9
Mudde awo mwewuunye! Mwesiruwaze, muzibe amaaso! Mutamiire, nga temunywedde mwenge! Mutagatte, nga temukombye ku kitamiiza!
10
Kubanga Mukama abataddemu omwoyo oguleeta otulo otungi era abazibye amaaso, mmwe abalanzi, asibye kantuntunu ku mmwe; nammwe abalaguzi emitwe gyammwe agibisseeko.
11
Amakulu gonna ag'okulabikirwa, gafuuse ng'ekitabo ekisibiddwako envumbo. Bwe kitwalirwa amanyi okusoma ne bamusaba nti: “Soma kino,” abaddamu nti: “Sisobola, kubanga kisibiddwako envumbo.”
12
Bwe bakiwa ataayiga kusoma ne bamusaba nti: “Soma kino,” abaddamu nti: “Ssaayigirizibwa kusoma.”
13
Awo Mukama n'agamba nti: “Abantu bano bansemberera ne banzisaamu ekitiibwa kya ku mumwa, nga kikoma mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe tegindiiko. N'okwandibadde okunsinza, bakuuma bulombolombo obubalagirwa abantu.
14
Kale ndikola mu bantu bano ekyamagero kye balyewuunya. Amagezi g'abagezi mu bo, galibula, n'okutegeera kw'abakungu baabwe, kulikwekebwa.”
15
Zibasanze abo abeerimba mbu bakweka Mukama bye bateesa, era abalina bye bakolera mu kizikiza. Bagamba nti: “Ani atulaba? Ne bye tukola ani abimanyi?”
16
Muvuunikira ddala ebintu! Omubumbi ageraageranyizibwa n'ebbumba? Ekintu omuntu ky'akoze, kiyinza okumugamba nti: “Tewankola?” Oba ekintu ekibumbibwa, kiyinza okugamba akibumba nti tategeera?
17
Ng'enjogera bw'egamba, akaseera kabulayo katono nnyo, ekibira ekikwafu eky'e Lebanooni kifuulibwe ennimiro eŋŋimu, n'ennimiro eŋŋimu eddemu okuba ekibira.
18
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, kiggala aliwulira ebimusomerwa mu kitabo, n'amaaso ga muzibe agabadde mu kizikiza, galitunula ne galaba.
19
Abantu abeetoowaze balyeyongera okusanyukira mu Mukama, n'abaavu balyesiimira mu Mutuukirivu wa Yisirayeli,
20
kubanga omulabe ow'entiisa alidibizibwa, n'omunyoomi alikomezebwa; n'abo bonna abatafa ku bya butuukirivu balizikirira.
21
Katonda alizikiriza abo abawaayiriza bannaabwe emisango gye batazzizza, n'abo abazibira eyagizza aleme kubonerezebwa, era ne balemesa omutuufu okusalirwa amazima.
22
Mukama eyanunula Aburaamu kyava ayogera ku nnyumba ya Yakobo, nti: “Aba Yakobo tebaliddamu kuswazibwa, n'amaaso gaabwe tegaliddamu kusiiwuuka.
23
Bwe muliraba ku baana be ndibawa mmwe, mulitegeera bwe ndi Omutuukirivu wa Yakobo. Mulinzisaamu ekitiibwa Nze Katonda wa Yisirayeli.
24
N'abo abasirusiru balifuuka abategeevu, n'abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.