Omuntu bw'alikwata muganda we mu nnyumba ya kitaawe, ng'ayogera nti “Ggwe olina eby'okwambala, beera mufuzi waffe ggwe, ne ntumu ya bino ebyonoonese, bibeere wansi w'omukono gwo,”
Mukama anaasalira omusango abakadde n'abakulembeze b'abantu be. Abalumiriza bw'ati, “Mmwe munyaguludde ensuku z'emizabbibu; era bye munyaze ku baavu biri mu nnyumba zammwe:
Mukama agamba nti, “Abawala ba Sayuuni balina amalala, era batambula nga balalambaza ensingo, era nga batunuza bukaba, batambula basiira nga bakoona engatto zaabwe.”
Ku lunaku olwo Mukama alibaggyako byonna eby'obuyonjo ebibaleetera okwekulumbaza: bye bambala ku bukongovvule, bye batikkira ku mitwe gyabwe, ne bye beenaanika mu bulago,
Awo olulituuka mu kifo ky'akaloosa walibaawo kuwunya kivundu. Mu kifo ky'olwebagyo, balyesibya miguwa. Mu kifo ky'enviiri ensunsule obulungi baliba na biwalaata. Mu kifo ky'engoye ennungi balyambala nziina, obulungi bwabwe bulifuuka nsonyi.