BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| “Zibasanze, abaana abajeemu,” Omukama y'agamba, “abatuukiriza entegeka sso nga si yange, abakola emikago naye nga si ku lwa Mwoyo wange, ne mutuuma ebibi ku bibi; |
| 2 |
| abatambula ne muserengeta e Misiri nga temunneebuuzizzaako, abaddukira eri Faraawo abakuume, abanoonya obwewogomo mu kittuluze kya Misiri. |
| 3 |
| Naye obukuumi bwa Faraawo bulibafuukira ensonyi, n'ekittuluze kya Misiri kiribafuukira obuswavu. |
| 4 |
| Newandibadde abakungu bo bali mu Zowani, n'ababaka bo nga batuuse e Kanesi, |
| 5 |
| bonna bagenda kuswazibwa olw'okubeera abantu abatayinza kubagasa, abatabayamba yadde okubaganyula, okuggyako okubaleetera ensonyi n'okuweebuuka.” |
| 6 |
| Obubaka ku bisolo by'omu Negevu: Nga bayita mu nsi ey'ennaku n'obuyinike, ey'empologoma enkazi n'ensajja, ey'amasalambwa n'amabuukizi, obugagga bwabwe ababaka babutisse ku migongo gy'endogoyi, n'amakula gaabwe ku mabango g'eŋŋamiya, bagatwalira nnyini eggwanga eritabaliimu muganyulo, |
| 7 |
| babitwala mu Misiri obuyambi bwe omutali nsa; kyenva mmuyita 'Rakabu-Nnantaganyula'! |
| 8 |
| Kale nno, gendayo, okibawandiikire ku kipande, kiwandiike mu kitabo, kibeere bujulizi gye bulijja emirembe n'emirembe. |
| 9 |
| Kubanga bano bantu bajeemu, baana balimba, abaana abataagala kuwuliriza njigiriza ya Mukama; |
| 10 |
| bagamba abalabi nti: “Mulekere awo okulabikirwa”, n'abalanzi nti: “Temutulangira bituufu; mutubuulire bisanyusa; mutubuulire bya kwefaanaanyiriza. |
| 11 |
| Lino ekkubo mulireke, muve mu bukubo buno; mutuggyirewo Omutuukirivu wa Yisirayeli.” |
| 12 |
| N'Omutuukirivu wa Yisirayeli kyava agamba nti: “Kubanga ng'ekigambo kino mukigaye, ne musuubirira mu kukola obubi ne mu bulyake, ne mwesiga ebyo, |
| 13 |
| kale nno ekibi kino kiribabeerera ng'ekisenge ekiwanvu ekibomole, ekibunduukiridde, ekinaagonnomoka amangu ddala. |
| 14 |
| Kiryatika ng'ensumbi ne kimulungukira ddala, ne wabulawo n'akatundu kaakyo akasangibwa okukuŋŋaanyizaako amanda okuva ku kyoto, yadde akaggyo okusenesa amazzi okuva mu luzzi.” |
| 15 |
| Omukama Katonda, Omutuukirivu wa Yisirayeli, kino ky'agamba: “Mu kweddamu ne mu butebenkevu mwe mulirokolerwa; mu busirise ne mu bwesige mwe muliba amaanyi gammwe; naye mmwe temwakyagala.” |
| 16 |
| Wabula mwagamba nti: “Nedda! Tujja kuddukira ku mbalaasi.” Kale ggwe mulidduka! Era nti: “Tugenda kwebagala mbalaasi eziwenyuka.” N'olw'ekyo n'ababagoba bagenda kubeera bawenyusi. |
| 17 |
| Olukumi lugenda kudduka ng'omu yekka y'ababoggoledde, ate abataano bwe balibaboggolera mugenda kudduka, okutuusa lwe mulisigala ng'omulongooti ku ntikko y'olusozi, ng'ebendera ku kasozi. |
| 18 |
| Sso nno Omukama abalindirira abasaasire; kyava asituka abasaasire, kubanga Omukama ye Katonda ow'obwenkanya; beesiimye bonna abamulindirira. |
| 19 |
| Mmwe abantu abali mu Siyoni, ababeera mu Yeruzaalemu, temukyaddayo kukaaba; tewali kubuusabuusa agenda kubasaasira bwe mulisaba okubajuna; amangu nga yaakawulira okulaajana kwammwe agenda kubaanukula. |
| 20 |
| Newandibadde Omukama abaleetera ennaku ng'ekyokulya, n'obuyinike ng'ekyokunywa, kyokka Omuyigiriza wammwe taliddayo kwekisa, n'amaaso gammwe mulimulaba. |
| 21 |
| Oba mukyukidde ku ddyo oba ku kkono, amatu gammwe galiwulira eddoboozi emabega wammwe nga ligamba nti: “Lino lye kkubo, mwe muba mutambulira.” |
| 22 |
| Olwo mulijaajaamya ebifaananyi bya balubaale ebisaanuuse bye mwasiigako ffeeza wammwe n'ebyo ebimaaleko zaabu. Mugenda kubisuula eri ng'ebiwero ebijama, nga mubirangiriza nti: “Muddire eri!” |
| 23 |
| Alitonnyesa enkuba ku nsigo zo z'onoobanga osize mu ttaka, n'emmere eribala mu ttaka eriba nnyingi nga ya mwero. Ku olwo amagana go galiriira mu malundiro ageetadde. |
| 24 |
| N'ente n'endogoyi ezikabala ettaka zinaalyanga essubi erirungemu omunnyo erimaze okwanjalibwa n'ekiwabyo n'ekkabi. |
| 25 |
| Ate ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu, kunaabangako emyala gy'amazzi egikulukuta, ku lunaku olw'okusanjaga okunene, eminaala lwe girigwa. |
| 26 |
| Ekitangaala eky'omwezi kiriba ng'eky'enjuba, ate eky'enjuba kirigejja emirundi musanvu okwenkana ekitangaala eky'ennaku omusanvu, ku lunaku Omukama lw'alisiba ebiwundu by'abantu be, n'awonya n'obuvune bw'abatuusizzaako. |
| 27 |
| Mulabe, erinnya ly'Omukama lijja nga liva ewala, n'obusungu obubuubuuka, ne mu kire ky'omukka ekikwafu; emimwa gye gijjudde obusungu, n'olulimi lwe, muliro ogusenkenya. |
| 28 |
| Omukka gw'assa guli ng'omugga ogubimba, ogutumbiira okutuuka ku bulago. Akuŋŋunta amawanga mu lugali olw'okuzikiriza; assa mu mba z'amawanga eddobo erigawabya. |
| 29 |
| Muliyimba ng'abali mu kiro omukuzibwa embaga enkulu, ng'emitima gijaganya ng'abambuka olusozi lw'Omukama nga bafuuwa endere, ku lwazi lwa Yisirayeli. |
| 30 |
| N'Omukama aliwuliza abantu eddoboozi lye ery'obuyinza; alibalaga omukono gwe nga gukka wansi, mu busungu obukambwe n'omuliro ogusenkenya, n'eggulu eribwatuka, kikuŋŋunta n'omuzira. |
| 31 |
| Eddoboozi ly'Omukama liritekemula Assuri, alimukuba n'omuggo ggwe. |
| 32 |
| Ate buli lukuba Omukama lw'alibakubanga n'omuggo gwe ogubonereza, luligenderanga ku nvuga y'ebide n'ennanga; alirwanyisa mu ntalo ng'omukono gwe agusitudde. |
| 33 |
| Tofeti yategekebwa dda, yategekebwa dda olwa kabaka. Ekinnya ky'enkoomi kyongeddwako obuwanvu n'obugazi, omuliro n'enku biri mu bungi; omukka gw'Omukama oguli ng'engezi y'ekibiriiti, gwe gunaakikuma. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/isaiah/030.mp3
66
30