×

Luganda Bible

Isaaya 31

1
Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okubeerwa, era abeesiga embalaasi; era abeesiga amagaali kubanga mangi, n'abeebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi; naye tebatunuulira Mutukuvu wa Isiraeri so tebanoonya Mukama!
2
Naye era naye wa magezi, era alireeta obubi, so talikomyawo bigambo bye: naye aligolokokera ku nnyumba y'abo abakola obubi ne ku buyambi bw'abo abakola ebitali bya butuukirivu.
3
Kale nno Abamisiri bantu buntu so si Katonda; n'embalaasi zaabwe mubiri bubiri so si mwoyo: era Mukama bw'aligolola omukono gwe, oyo ayamba alyesittala era n'oyo ayambwa aligwa, kale bonna baliggweerawo wamu.
4
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋamba nti Ng'empologoma bw'ewulugumira ku muyiggo gwayo n'empologoma ento, abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba, teritiisibwa na ddoboozi lyabwe, so teryetoowaza lwa kuyoogaana kwabwe: bw'atyo Mukama ow'eggye bw'alikka okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku kasozi kaako.
5
Ng'ennyonyi ezibuuka, bw'atyo Mukama ow'eggye bw'anaakuumanga Yerusaalemi; anaakikuumanga n'akiwonya, aliyitako n'akirokola.
6
Mukyukire oyo gwe mwajeemerera ddala, mmwe abaana ba Isiraeri.
7
Kubanga ku lunaku luli balisuulira ddala buli muntu ebifaananyi bye ebya ffeeza, n'ebifaananyi bye ebya zaabu, engalo zammwe mmwe bye zaabakolera okuba ekibi.
8
Awo Omwasuli aligwa n'ekitala ekitali kya bantu; n'ekitala ekitali kya bantu kirimulya: era alidduka ekitala, n'abavubuka be balifuuka musolo.
9
N'olwazi lwe lulivaawo olw'okwesisiwala, n'abakulu be balikeŋŋentererwa olw'ebendera, bw'ayogera Mukama, omuliro gwe guli ku Sayuuni n'ekikoomi kye mu Yerusaalemi.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes