Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Zibasanze abo abagenda e Misiri okunoonyaayo obuyambi, nga beesigayo embalaasi awamu n'amagaali, kubanga waliyo mangi era nga n'abaserikale abeebagala embalaasi balina amaanyi mangi, ne bateesiga Mukama Omutuukirivu wa Yisirayeli kumusaba abayambe, wadde okumwebuuzaako! |
| 2 |
| Amanyi bulungi, ky'akola. Ye ye yaleeta akabi era takyusa ky'agambye; wabula abonereza abakola ebibi, era n'abo ababawagira okubikola. |
| 3 |
| Abamisiri bantu buntu sso si Katonda. N'embalaasi zaabwe zirina omubiri, sso si mwoyo mwereere. Mukama bw'aligolola omukono gwe, abayambi balyesittala, n'abayambibwa ne bagwa, bonna wamu ne bazikirizibwa. |
| 4 |
| Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Ng'empologoma bw'ewulugumira ku nsolo yaayo gy'eyizze, n'etetiisibwa abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba ne bwe baboggola ne baleekaana, bwe ntyo nange Mukama Nnannyinimagye bwe ndikka okulwanira ku Lusozi Siyooni, ku ntikko yaalwo. |
| 5 |
| Ennyonyi nga bw'ebwama ku kisu okutaasa obwana bwayo, nange Mukama Nnannyinimagye bwe nnaakuumanga Yerusaalemu ne nkitaliza ne nkiwonya. |
| 6 |
| “Mmwe Abayisirayeli, mukyuke mudde gye ndi, Nze gwe mwajeemera ennyo bwe mutyo. |
| 7 |
| Ekiseera kijja kutuuka mwenna musuule eri ebifaananyi bye musinza, ebya ffeeza n'ebya zaabu bye mwekolera, ebibaleetera okwonoona. |
| 8 |
| Olwo Abassiriya balittirwa mu lutalo naye nga tebattibwa bantu. Balittibwa baggweewo. Abassiriya abo balidduka olutalo, n'abavubuka baabwe balifuulibwa abaddu. |
| 9 |
| Kabaka waabwe alidduka ng'atidde, n'abakungu be balitya nnyo ne balekawo bbendera yaabwe.” Mukama asinzibwa mu Siyooni n'ayokerwa ebitambiro mu Yerusaalemu, bw'atyo bw'agamba. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/isaiah/031.mp3
66
31