Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okubeerwa, era abeesiga embalaasi; era abeesiga amagaali kubanga mangi, n'abeebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi; naye tebatunuulira Mutukuvu wa Isiraeri oba okwebuuza ku Mukama!
Naye era naye wa magezi, era alireeta obubi, so talikomyawo bigambo bye, naye aligolokokera ku nnyumba y'abo abakola obubi ne ku bayambi baabo abakola ebitali bya butuukirivu.
Abamisiri bantu buntu, so si Katonda; n'embalaasi zaabwe mubiri bubiri so si mwoyo. era Mukama bw'aligolola omukono gwe, oyo ayamba alyesittala era n'oyo ayambwa aligwa, kale bombi balizikiririra wamu.