|
| 1 |
|
| Ekiseera kirituuka, ne wabaawo kabaka alifugisa obwenkanya, n'abakungu be ne bagoberera amazima. |
|
| 2 |
|
| Buli omu ku bo aliba ng'ekifo eky'ekiddukiro eky'okwewogomamu empewo n'okuwoneramu kibuyaga. Baliba ng'emigga gy'amazzi mu nsi enkalu ey'eddungu. Baliba ng'ekisiikirize ky'olwazi olunene mu kitundu ky'ensi ekikaze. |
|
| 3 |
|
| Amaaso gaabwe n'amatu gaabwe galiba maggule, bamanye ebiruma abantu. |
|
| 4 |
|
| Baliggwaamu obutali bugumiikiriza, ne bakola ebiraga bwe balumirwa abalala. Era n'ababadde banaanaagira balisobola okwogera obulungi. |
|
| 5 |
|
| Omusiru aliba takyayitibwa nti muntu wa kitiibwa, wadde n'oyo omulyake okuyitibwa omugabi. |
|
| 6 |
|
| Omusiru ayogera bya busiru, era ateesa kukola bibi. By'akola ne by'ayogera biba bivuma Mukama. Ye tawa mmere bayala, n'abalumibwa ennyonta, tabafunira kye banaanywa. |
|
| 7 |
|
| Omulyake muntu mubi, era ne by'akola si birungi: ateesa kuzikiriza baavu ng'akozesa obulimba, ne bwe baba nga bye basaba bibasaanidde. |
|
| 8 |
|
| Naye ow'omutima omugabi alowooza ku kukola birungi, era mu byo mw'anywerera. |
|
| 9 |
|
| Mmwe abakazi abataliiko kye mweraliikirira, nammwe abawala abateefiirayo, mwenna mujje, mutege amatu, muwulirize bye ŋŋamba. |
|
| 10 |
|
| Mmwe abakazi, kaakano temuliiko kye mufaayo, naye mu bbanga lya mwaka nga gumu mulisoberwa ne mutya, ng'emizabbibu ku olwo gye mukungula, tewali. |
|
| 11 |
|
| Mukankane mmwe abakazi abatalina kye mufaayo. Munakuwale mmwe, abataliiko kye mweraliikirira. Mweyambulemu engoye zammwe, mwesibe ebikutiya mu biwato okulaga ennaku yammwe. |
|
| 12 |
|
| Mwekube mu bifuba nga mulaga okunakuwala, olw'ennimiro ennungi n'emizabbibu emigimu ebisaanyiziddwawo. |
|
| 13 |
|
| Ensi y'abantu bange ya kumeramu maggwa wamu ne katazzamiti. Mukaabire amayumba n'ekibuga omwasanyukiranga abantu. |
|
| 14 |
|
| N'olubiri lulyabulirwa. Ekibuga ekyali kikubyeko abantu, kirifuuka kifulukwa. Olusozi n'eminaala ebirengererwako biriba matongo ennaku zonna, omuligitira entulege, era omulundirwa amagana. |
|
| 15 |
|
| Ekiseera kirituuka Katonda n'atuyiwako Mwoyo we okuva waggulu, eddungu ne lifuuka ennimiro eŋŋimu, obugimu bw'ennimiro eŋŋimu ne buba nga bwa kibira. |
|
| 16 |
|
| Buli wantu mu ggwanga, walibaawo obwenkanya n'okukolera ku mazima. |
|
| 17 |
|
| N'ekiriva mu kubaawo obwenkanya, walibaawo emirembe, obutebenkevu n'obwesige ennaku zonna. |
|
| 18 |
|
| Abantu ba Mukama balibeera mirembe mu nsi yaabwe, batebenkere mu maka gaabwe, ne mu bifo mwe bawummulira. |
|
| 19 |
|
| Naye omuzira gulitonnya ne gukuba ekibira ekyo ne kigwa, era n'ekibuga ne kisuulirwa ddala wansi |
|
| 20 |
|
| Nga muliba n'omukisa mmwe abasiga ku mbalama z'emigga, ne muba n'amalundiro wonna gye muliisiza ente n'endogoyi. |
|
|
|
|