1
Laba, kabaka alifuga mu butuukirivu, n'abalangira balifuga mu bwenkanya.
2
Buli muntu aliba ng'ekifo eky'okwekwekamu empewo, n'ekiddukiro eri kibuyaga; ng'emigga gy'amazzi mu kifo ekikalu, ng'ekisiikirize ky'olwazi olunene mu nsi ekooye.
3
Olwo amaaso g'abo abalaba tegaliziba, n'amatu g'abo abawulira galiwuliriza.
4
N'omutima gw'oyo eyeeyinula gulifuna okusalawo okulungi, n'olulimi lw'abananaagize lulisumulukuka ne boogera bulungi.
5
Omusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa, so n'omukodo nga tebamuyita wa kisa.
6
Kubanga omugwagwa alyogera eby'obugwagwa, n'omutima gwe gukola ebitali bya butuukirivu, okukola eby'obutatya Katonda, n'okwogera ebikyamu ku Mukama, okuleka omuyala nga takusiddwa bya kulya, n'okumalawo ow'ennyonta kyeyandinywedde.
7
Ebintu by'omukodo bibi; akola entegeka embi okuzikiriza omwavu n'ebigambo eby'obulimba, atalina kintu ne kyasaba nga kituufu.
8
Naye omugabi alowooza bya kugaba; era mu by'okugaba mw'alinywerera.
9
Mugolokoke, mmwe abakazi abateefiirayo, muwulire eddoboozi lyange; mmwe abawala abawulira nga temulina kyemwetaaga, mutegere amatu ebigambo byange.
10
Mulinakuwalira ennaku ezirisussa omwaka, mmwe abakazi abawulira nga temulina kye mwetaaga; kubanga ebikungulwa eby'emizabbibu birifa, okukungula tekulituuka.
11
Mukankane, mmwe abakazi abateefiirayo, mukankane mmwe abawulira nga temulina kye mwetaaga; mweyambule, mubeere bwereere mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12
Mwekube mu kifuba olw'ennimiro ezaali zisanyusa, olw'emizabbibu egyabalanga.
13
Ku nsi y'abantu bange kulimera amaggwa ne katazamiti; weewaawo, ku nnyumba zonna ez'essanyu mu kibuga eky'essanyu.
14
Kubanga olubiri lulirekebwawo; ekibuga eky'abantu abangi kiriba kifulukwa; olusozi n'ekigo ekirengererwako biriba mpuku ennaku zonna, ssanyu lya ntulege, ddundiro lya magana;
15
okutuusa omwoyo lwe gulitufukibwako okuva waggulu, eddungu ne lifuuka ennimiro engimu, ennimiro engimu ne bagiyita kibira.
16
Kale obwenkanya bulituula mu ddungu, n'obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
17
N'omulimu gw'obutuukirivu guliba mirembe; era obutuukirivu bulireeta obutebenkevu n'obwesige ennaku zonna.
18
N'abantu bange balituula mu kifo eky'emirembe ne mu nnyumba ez'enkalakkalira, ne mu bifo ebiwummulirwamu eby'emirembe.
19
Naye omuzira guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo; n'ekibuga kirisuulirwa ddala wansi.
20
Mulina omukisa mmwe abasiga ku mabbali g'amazzi gonna, ne muleka ente n'endogoyi ne zirya nga zeeyagala.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.