×

Luganda Bible 2003

Isaaya 33

1
Zibasanze mmwe abanyaga sso nga temunyagibwanga, era abalyamu bannammwe enkwe nga temuliibwangamu nkwe. Bwe mulimala okunyaga, nammwe ne mulyoka munyagibwa. Era bwe mulikomya okulyamu enkwe nammwe ne babalyamu enkwe.
2
Ayi Mukama tukwatirwe ekisa kubanga twesize ggwe. Tukuumenga buli lukya ne mu kiseera ky'okubonaabona.
3
Bw'osituka n'otulwanirira, amawanga gasaasaana, ne gadduka oluyoogaano lw'olutalo.
4
Ebintu byago birigwibwako ne bifuulibwa omunyago, ng'obuwuka bwe bukuŋŋaanya kye busanga kyefiiridde, era nga n'enzige bwe zigwa ku bye zisanga mu nnimiro.
5
Mukama atenderezebwe, kubanga ye afuga buli kintu. Alijjuza mu Siyooni obwenkanya n'amazima,
6
era mu biseera byammwe alireetawo obutebenkevu, n'ataasanga abantu be, era n'abawanga amagezi n'okumanya. Obugagga bwabwe obukulu buli mu kutya Mukama.
7
Mulabe, abazira baabwe bakaabira bweru; ababaka abatumiddwa okuteesa wabeewo emirembe, bakaaba nnyo amaziga.
8
Ezo enguudo temukyayitika. Abaziyitamu baggwaawo, endagaano zimenyeddwa, ebibuga binyoomeddwa, tewali assibwamu kitiibwa.
9
Ensi tekyalimwa, erekeddwa awo. Ebibira bya Lebanooni biwotose. Ekiwonvu Saroni ekigimu, kaakano kiri nga ddungu. Mu Basani ne ku Lusozi Karumeeli emiti giwaatudde.
10
Mukama agamba amawanga nti: “Kaakano nja kusituka, ndage bwe nnina obuyinza n'amaanyi.
11
Mutegeka ebitajja kubayamba, mukola ebitajja kubagasa. Omukka gwammwe gwe mussa, muliro gwennyini ogulibookya.
12
Muliba ng'ebiyinjayinja bye bookya ne bafunamu cooka; muliba ng'amaggwa agatemeddwa ne gabengeyera mu muliro.
13
Mmwe abali okumpi, nammwe abali ewala, muwulire bye nkoze, mukkirize nga nnina obuyinza.”
14
Aboonoonyi abali mu Siyooni abatassaamu Katonda kitiibwa bakankana nga batidde. Kaakano bagamba nti: “Ennamula ya Mukama eri ng'omuliro ogwokera ddala ennaku zonna. Ani ku ffe ayinza okulama mu muliro oguli ng'ogwo?”
15
Omuntu akola ebituufu era ayogera eby'amazima; anyoomera ddala amagoba agava mu kunyigiriza abalala; eyeesammulira ddala enguzi, ateetaba mu mboozi za kutemula bantu; era atatunuulira bitasaana,
16
oyo ye aliba awagulumivu. Ekifo kye eky'okwerindiramu kiribeera kyekusifu ekigumu ddala ng'olwazi. Aliba n'emmere gy'alya era n'amazzi ag'okunywa.
17
Muliraba kabaka afugira mu kitiibwa ensi ekoma ewala mu bunene bwayo.
18
Mulifumiitiriza ku kutya kwe mwabanga nakwo. Abagereka omusolo n'abakessi be mwatyanga, mulisanyuka okwebuuza gye badda.
19
Abagwira abeepansi abaali boogera olulimi lwe mutayinza kutegeera, muliba temukyabalaba.
20
Mutunuulire Siyooni ekibuga ky'Embaga zaffe. Mulabe Yerusaalemu bwe kiri ekitebenkevu; kye kifo ekibeerekamu. Kiriba nga weema gye batajjulula ng'enkondo zaayo nnywevu tezisimbulwa ennaku zonna, n'emiguwa gyayo tegikutuka.
21
Mukama alitulagirayo ekitiibwa kye. Tulibeera mu kifo eky'ensulo n'emigga emigazi omutaayitenga maato na mmeeri eby'abalabe.
22
Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye ye atuteekera amateeka, Mukama ye Kabaka waffe era ye mulokozi waffe.
23
Emiguwa gyabwe egisiba tegikyasobola kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe. Tegikyayinza kuwanika ttanga. Ebintu byonna eby'abalabe birifuuka munyago gwaffe omunene, n'abalema balyenyagira.
24
Tewaliba n'omu ku batuuze b'omu nsi yaffe aligamba nti alwadde. Abantu abalibeera eyo balisonyiyibwa ebibi byabwe.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes