Enjuba n'omwezi n'emmunyeenye biriwanuka ku ggulu byedomole, n'eggulu lirizingibwako ng'omuzingo gw'empapula. Olwo ebiririko byonna, birikunkumuka ne bigwa ng'ebikoola bwe byengerera ne biva ku muzabbibu, oba ku muti omutiini.
Mu yo, kimbala ne nnamunnungu bye birifuuka nnyinimu; ne nnamuŋŋoona n'ebiwuugulu bye binaagibeerangamu. Mukama aligiteekamu okutabukatabuka era aligifuula etekyalimu mugaso.
Eyo ebiwuugulu gye birikola ebisu byabyo ne bibiika, ne bimaamira, ne byalulirayo era ebito ne bikulira eyo. Ne bikamunye binaakuŋŋaanirangayo ebisajja okusisinkana ebikazi.
Munoonye mu kitabo kya Mukama, musomemu mulabe nga tekulibula na kimu ku bitonde ebyo, era tewaliba kisajja kitalina kinnaakyo ekikazi, kubanga Mukama ye yalagira bibeere bwe bityo, era Mwoyo we y'abikuŋŋaanya.