1
Musembere, mmwe amawanga, okuwulira; era muwulirize, mmwe abantu, ensi ewulire n'okujjula kwayo; ettaka n'ebintu byonna ebirivaamu.
2
Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna, n'ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna, abazikiririzza ddala, abagabudde okuttibwa.
3
Era abaabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, n'ekivundu eky'emirambo gyabwe kiririnnya, n'ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
4
N'eggye lyonna ery'omu ggulu liryabulukuka, n'eggulu lirizingibwa ng'omuzingo gw'empapula, n'eggye lyalyo lyonna liriyongobera, ng'akalagala bwe kayongobera ne kava ku muzabbibu, era ng'akalagala akayongobera bwe kava ku mutiini.
5
Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu; laba, kirigwa ku Edomu, ne ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango.
6
Ekitala kya Mukama kijjudde omusaayi, kiriko amasavu, n'omusaayi gw'abaana b'endiga n'embuzi, n'amasavu ag'ensigo z'endiga ennume. Kubanga Mukama alina ssaddaaka e Bozula, n'okutta abangi mu nsi ya Edomu.
7
N'embogo ziriserengeta wamu nazo, n'ente wamu ne zisseddume; n'ensi yaabwe eritamiira omusaayi, n'enfuufu yaabwe erisavuwala n'amasavu.
8
Kubanga Mukama alina olunaku olw'okuwalana eggwanga, omwaka ogw'okusasula empeera mu mpaka za Sayuuni.
9
N'emigga gyayo girifuuka lunyata, n'enfuufu yaayo kibiriiti, n'ensi erifuuka lunyata olw'okya.
10
Terizikizibwa misana newakubadde ekiro; omukka gwayo gunaanyookanga ennaku zonna. emirembe n'emirembe eneebeereranga awo ng'ezise; tewaabenga anaagiyitangamu emirembe n'emirembe.
11
Naye kimbala ne namunnungu be banaabanga bannyini yo; n'ekiwugulu ne nnamuŋŋoona be banaatuulanga omwo; era aligireegako omugwa ogw'okwetabula, n'amayinja agatereeza ag'obutaliimu.
12
Baliyita abakungu baayo okujja mu bwakabaka, naye tewaliba alibaayo; n'abalangira baayo bonna baliba si kintu.
13
N'amaggwa galimera mu mayumba gaayo, emyennyango n'amatovu mu bigo byayo; era eneebanga nnyumba za bibe, luggya lwa bamaaya.
14
N'ensolo enkambwe ez'omu ddungu zirisisinkana n'emisege, n'eya zigeye eriyitiriza ginnaayo; weewaawo, ennyonyi ey'ekiro erigwa eyo, ne yeerabira ekiwummulo.
15
Eyo ekkufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo, ne libiika, ne limaamira, ne likuŋŋaanya wansi w'ekisiikirize kyalyo; weewaawo, eyo bakamunye gye balikuŋŋaanira, buli omu wamu ne munne.
16
Munoonye mu kitabo kya Mukama musome; tekulibula ku ebyo na kimu, tewaliba ekiribulwa kinnaakyo: kubanga akamwa kange ke kalagidde, n'Omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza.
17
Era abikubidde obululu, n'omukono gwe gugigabanyiza n'omugwa; binaagiryanga ennaku zonna, emirembe n'emirembe binaatuulanga omwo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.