×

Luganda Bible 2003

Isaaya 35

1
Eddungu n'ensi enkalu birisanyuka Eddungu lirimulisa ebimuli ng'eby'ejjirikiti.
2
Eddungu liriyimba, ne lireekaana olw'essanyu. Lirirabika bulungi nga lisanyusa, ng'ensozi za Lebanooni. Liriba ggimu ng'ennimiro ez'e Karumeeli ne Saroni. Bonna baliraba ekitiibwa kya Mukama, baliraba amaanyi n'obuyinza ebya Katonda waffe.
3
Munyweze emikono egitalina maanyi, mugumye amaviivi agajugumira.
4
Mugambe abo abaterebuse nti: “Mugume, temutya. Mulabe, Katonda wammwe ajja okubataasa, n'okubonereza abalabe bammwe.”
5
Olwo amaaso ga bamuzibe galizibuka, n'amatu ga bakiggala galigguka.
6
Olwo awenyera alibuuka ng'ennangaazi ne kasiru aliyimba, kubanga emigga gy'amazzi girikulukutira mu ddungu.
7
Omusenyu ogwokya mu ddungu gulifuuka ekiyanja, n'ensi enkalu erakasidde erijjamu ensulo z'amazzi. Ekifo ebibe mwe byagalamiranga, kirimeramu omuddo, n'essaalu n'ebitoogo.
8
Walitemwayo oluguudo, lube ekkubo eriyitibwamu. Luliyitibwa “Kkubo Ttukuvu.” Teririyitibwamu batali balongoofu. Abalitambuliramu, wadde nga basiru, tebaliriwabiramu.
9
Tewalibaayo mpologoma. N'ensolo enkavvuzi teriyita mu kkubo eryo, naye abo Mukama b'anunudde be baliritambuliramu.
10
Aba Mukama abaguliddwa balikomawo e Siyooni nga bayimba. Baliba mu ssanyu ennaku zonna. Balisanyuka ne bajaguza, era okunakuwala n'okusinda, kuliggweerawo ddala.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes