Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Eddungu n’ensi enkalu birijaguza; Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu. Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti |
| 2 |
| birimeruka, birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka. Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa, ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni; baliraba ekitiibwa kya Mukama, ekitiibwa kya Katonda waffe. |
| 3 |
| Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye. |
| 4 |
| Mugambe abo abalina omutima omuti nti, Mubeere n’amaanyi temutya: laba Katonda wammwe alijja; alibalwanirira, alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda, era alibalokola. |
| 5 |
| Olwo amaaso g’abazibe galiraba, era n’amatu ga bakiggala galigguka; |
| 6 |
| omulema alibuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu. Amazzi galifubutuka ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu. |
| 7 |
| N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba, n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi. Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo, n’essaalu, n’ebitoogo. |
| 8 |
| Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo, eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu. Abatali balongoofu tebaliriyitamu, liriba ly’abali abalongoofu, kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu. |
| 9 |
| Teribaayo mpologoma, so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe; tezirirabikayo, naye abanunule balitambulira eyo. |
| 10 |
| N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde. Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza, okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/isaiah/035.mp3
66
35