Laba, weesigama ku muggo ogw'olumuli luno olubetentefu, ye Misiri; omuntu bwe yeesigama okwo, guyingira mu ngalo ze ne guzifumita: bw'atyo bw'abeera Falaawo kabaka w'e Misiri eri abo bonna abamwesiga.
Naye bw'onoŋŋamba nti Twesiga Mukama Katonda waffe: si ye wuuyo Keezeekiya gwe yaggyako ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino?
Kale oyinza otya okukyusa amaaso g'omwami omu ku abo abasinga obuto ku baddu ba mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'olw'abeebagala embalaasi?
Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulumanyi: so toyogera naffe mu lulimi olw'Abayudaaya mu matu g'abantu abali ku bbugwe.
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.