BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Kezekiya, Sennakeribu kabaka wa Assuri yalumba ebibuga byonna ebya Yuda okuli n'ebigo, n'abiwamba. |
| 2 |
| Awo kabaka wa Assuri n'asindika okuva e Lakisi omusenero omukulu ng'ali n'eggye ddene ewa Kezekiya mu Yeruzaalemu. N'ayimirira okumpi n'olusalosalo lw'amazzi olw'Ekidiba eky'Engulu ekiri ku kkubo eriraga ku Nnimiro y'Omwozi. |
| 3 |
| Awo Eliyakimu mutabani wa Kilukiya katikkiro w'olubiri, Sebuna omuwandiisi ne Yowa akuuma ebyafaayo, mutabani wa Asafu, ne bafuluma okubasisinkana. |
| 4 |
| Omusenero omukulu n'abagamba nti: “Mugambe Kezekiya nti: Kabaka omukulu, kabaka wa Assuri kino ky'agamba: ‘Weesiga ki ekyo ekikuyinula? |
| 5 |
| Obukodyo n'amaanyi eby'okulwana by'olowooza nti obirina, ebyo bigambo bugambo bya ku mumwa. Weesiga ani okuguma n'onjeemera? |
| 6 |
| Laba kati mbu weesiga Misiri, oyo omuggo ogw'olumuli olusasambuse, olusala omukono gw'omuntu ne lumufumita singa alwesigamako. Ne Faraawo kabaka w'e Misiri bw'ali ku bonna abamwesiga. |
| 7 |
| Bwe munaagamba nti: “Twesiga Mukama Katonda waffe,” si ye oyo Kezekiya gwe yaggyirawo ebifo ebigulumivu n'emyaliiro gye, n'alagira Yuda ne Yeruzaalemu nti: “Ku mwaliiro guno kwe munaasinzizanga?” |
| 8 |
| Kale nno singawo ne mukama wange kabaka wa Assuri. Nzija kukuwa embalaasi enkumi bbiri singa ggwe oneezuulira abanaazeebagala. |
| 9 |
| Osobola otya okuwangula yadde omugabe asingayo obutene mu baweereza ba mukama wange abasembayo, newandibadde nga weeyinula Misiri olw'ebigaali n'abeebagazi? |
| 10 |
| Olowooza nze okujja mu kifo kino nkisaanyeewo Omukama tamaze kuŋŋamba? Omukama yennyini y'aŋŋambye nnumbe ensi eno ngisaanyeewo.’ ” |
| 11 |
| Eliyakimu mutabani wa Kilukiya, Sebuna ne Yowa ne bagamba omusenero omukulu nti: “Tukwegayiridde, yogera n'abaweereza bo mu Lwarami, kasita tulutegeera; toyogera naffe mu Luyudaaya ng'abantu abali ku bbugwe bawulira.” |
| 12 |
| Omusenero omukulu n'ayanukula nti: “Olowooza mukama wange yantumye njogere ebigambo bino eri mukama wo n'eri ggwe wekka? Teyantumye n'eri abasajja abatudde waggulu ku bbugwe, okufaanana nga ggwe aboolekedde okulya obubi bwabwe n'okunywa omusulo gwabwe?” |
| 13 |
| Omusenero omukulu n'ayimirira, n'aleekaana n'eddoboozi eddene mu Luyudaaya n'agamba nti: “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka wa Assuri. |
| 14 |
| Kabaka kino ky'agamba: ‘Kezekiya aleme kubawubisa; tasobola kubawonya. |
| 15 |
| Kezekiya aleme na kubakkirizisa kwesiga Mukama ng'agamba nti: “Omukama mazima anaatuwonya; ekibuga kino tekijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka wa Assuri.” |
| 16 |
| Muleke kuwuliriza Kezekiya.’ Kabaka wa Assuri kino ky'agamba: ‘Mukkaanye, muveeyo mujje gye ndi; olwo buli omu ajja kulya ku muzabbibu gwe ne ku mukunyu gwe, anywe amazzi ng'agaggya mu nzizi ze, |
| 17 |
| okutuusa lwe najja ne mbaggyawo ne mbatwala mu nsi efaanana n'eyammwe; ensi ey'eŋŋano n'evviini; ensi ey'emigaati n'ennimiro z'emizabbibu. |
| 18 |
| Muleke kuwuliriza Kezekiya oyo abalimbalimba ng'agamba nti: “Omukama anaatulokola.” Waali wabaddewo lubaale w'eggwanga lino oba liri eyali awonyezza abantu be mu mikono gya kabaka wa Assuri? |
| 19 |
| Balubaale b'e Kamati ne Arupadi bali ludda wa? Balubaale b'e Sefaruvayimu bali ludda wa? Balubaale b'omu Samariya bali ludda wa? Samariya baakiwonya mu mikono gyange? |
| 20 |
| Baluwa balubaale b'ensi eno oba eri abaali baggye ensi yaabwe mu mikono gyange? Olwo nno n'Omukama lw'anaggya Yeruzaalemu mu mikono gyange?’ ” |
| 21 |
| Naye abantu ne basirika busirisi, tebaayanukula kantu, kubanga kabaka yali abalagidde nti: “Temumunyega.” |
| 22 |
| Eliyakimu mutabani wa Kilukiya katikkiro w'olubiri wamu ne Kezekiya, Sebuna omuwandiisi ne Yowa akuuma ebyafaayo, mutabani wa Asafu, ne bagenda ewa Kezekiya ng'ebyambalo babiyuzizza, ne bamubuulira omusenero omukulu by'agambye. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/isaiah/036.mp3
66
36