N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona, nga bambadde ebibukutu, eri Isaaya nabbi mutabani wa Amozi.
Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kunenyezebwamu era lwa kuvumirwamu: kubanga abaana batuuse okuzaalwa, so tewali maanyi ga kuzaala.
Bwe mutyo bwe muligamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nga mwogera nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.
kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: Omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja akunyoomye era akugadizza; omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe.
Oyimye mu baddu bo okuvuma Mukama n'oyogera nti N'amagaali gange amangi nnyambuse ku ntikko y'olusozi, ntuuse mu njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditemera ddala emivule gyako emiwanvu, n'enfugo zaako ezisinga obulungi: era ndituuka ku lusozi lwako olukomererayo, ekibira eky'ennimiro ye eŋŋimu.
Abaabituulangamu kyebaava babeera ab'amaanyi amatono, baatekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu nnimiro era ng'omuddo omubisi, ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, era ng'omusiri gw'eŋŋaano nga tennakula.
Kubanga onneesalirako akajegere era kubanga ettitimbuli lyo lirinnye mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, era ndikuzzaayo mu kkubo lye wajjiramu.
Era kano ke kaliba akabonero gy'oli: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogw'okubiri ekyo kye gumera; ne mu mwaka ogw'okusatu musiganga mukungulanga musimbanga ensuku z'emizabbibu mulyanga ebibala byamu.
Awo olwatuuka bwe yali ng'asinziza mu kiggwa kya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n'ekitala: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n'amuddira mu bigere.