BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Kabaka Kezekiya olwabiwulira, n'ayuza ebyambalo bye, n'ayambala ekikutiya n'ayingira mu Kiggwa ky'Omukama. |
| 2 |
| Yasindika ewa Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi Eliyakimu katikkiro w'olubiri, ne Sebuna omuwandiisi na bonna abakulembera mu bakabona, nga bambadde ebikutiya. |
| 3 |
| Ne bamugamba nti: “Kezekiya kino ky'agamba: ‘Luno olunaku lwa buyinike, lwa kugugumbulwa, lwa nsonyi ng'abaana abatuuse ku kuzaalibwa naye nga temuli twanyi tubazaala. |
| 4 |
| Oboolyawo ng'Omukama Katonda wo awulidde ebigambo byonna eby'omusenero omukulu, mukama we kabaka wa Assuri gw'atumye okuvuma Katonda omulamu. Oboolyawo Omukama Katonda wo anaabonereza ebigambo by'awulidde. Kale nno sabira kaawonawo akyasigaddewo.’ ” |
| 5 |
| Abaweereza ba kabaka Kezekiya bwe bajja ewa Yisaaya, |
| 6 |
| Yisaaya n'abagamba nti: “Kino kye munaagamba mukama wammwe: ‘Omukama kino ky'agamba: Leka kutya bigambo by'owulidde, ebyo obulenzi bwa kabaka wa Assuri bye bunvumye. |
| 7 |
| Laba, nzija kumussaamu omwoyo nti olunaawulira olugambo, ng'addayo mu nsi ye; eyo mu nsi gye nnaamukubira n'ekitala.’ ” |
| 8 |
| Omusenero omukulu n'addayo, kubanga yali awulidde nti kabaka wa Assuri yali avuddeyo mu Lakisi; yasanga kabaka wa Assuri alumbye Libuna. |
| 9 |
| Sennakeribu yali awulidde nti: “Tiruwaka kabaka w'e Kuusi asitudde, ajja okukutabaala,” n'asindika ababaka ewa Kezekiya ng'abagambye nti: |
| 10 |
| “Bino mubigambe Kezekiya kabaka wa Yuda nti: ‘Katonda wo gwe weesiga takuyinula ng'ogamba nti: “Yeruzaalemu tekiweebwe mu mikono gya kabaka wa Assuri.” |
| 11 |
| Ggwe wennyini weewulirira bakabaka ba Assuri bye baakola ensi zonna, nga bwe baazisaanyaawo. Ggwe onoowona? |
| 12 |
| Balubaale b'amawanga bajjajjange ge baaleka amatongo baasobola okubawonya? Nga Gozani, Karani, ne Rezefi, n'abantu ba Edeni abaali mu Teli Assari? |
| 13 |
| Kabaka w'e Kamati ali ludda wa? Ate ow'e Arupadi, ne kabaka w'ekibuga Sefaruvayimu, owa Ena n'ow'e Yivva?’ ” |
| 14 |
| Kezekiya n'aggya ebbaluwa eyo mu mikono gy'ababaka n'agisoma, n'ayambuka mu Kiggwa ky'Omukama, n'agyanjululiza mu maaso g'Omukama. |
| 15 |
| Kezekiya ne yeegayirira mu maaso g'Omukama ng'agamba nti: |
| 16 |
| “Ayi Mukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, awaŋŋamye wakati mu bakerubi, wekka ggwe Katonda afuga obwakabaka bwonna ku nsi. Ggwe wakola eggulu n'ensi. |
| 17 |
| Tega okutu kwo, ayi Mukama, owulire; zibula amaaso, ayi Mukama, olabe; wulira ebigambo byonna ebya Sennakeribu by'aweerezza okuvuma Katonda omulamu. |
| 18 |
| Kituufu, ayi Mukama, bakabaka ba Assuri baazikiriza amawanga n'ensi zaabwe. |
| 19 |
| Balubaale baabwe baabasuula mu muliro ne babengeya, kubanga anti tebaali balubaale, wabula biti na mayinja, abantu obuntu bye baakola n'emikono gyabwe. |
| 20 |
| Naye nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mikono gye, buli bwakabaka bwonna obw'ensi bumanye nti wekka, ayi Mukama, ggwe Katonda.” |
| 21 |
| Yisaaya mutabani wa Amozi n'aweereza Kezekiya obubaka ng'agamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Olw'essaala gy'osabye gye ndi ku lwa Sennakeribu kabaka wa Assuri, |
| 22 |
| kino kye kigambo Omukama ky'amwogeddeko: “ ‘Embeerera muwala wa Siyoni akugaye n'akusekerera; muwala wa Yeruzaalemu anyeenya mutwe emabega wo. |
| 23 |
| Ani gw'ojooze? Ani gw'ovumye? Ani gw'owogganidde? Ani gw'okimbye? Ye Mutuukirivu wa Yisirayeli! |
| 24 |
| Oyise mu baweereza bo n'ovuma Omukama. N'ogamba nti: “N'enkumuliitu y'ebigaali byange mpalampye entikko z'ensozi, mu masosso ga Lebanoni. Natema entolookyo zaakwo empagguufu, ne sipulaasi waakwo omulungi. Nakyesonseka okutuuka gye kikoma ekibira gye kibisse. |
| 25 |
| Nasima enzizi ne nnywa amazzi; n'ebigere byange ne nkaza emigga gyonna egy'e Misiri.” |
| 26 |
| “ ‘Towuliranga nti nakitegeka kuva dda? Obwedda n'obwedda nga nkitegeka. Kati nkituukirizza: Nti ojja kuzikiriza ebibuga okuli ebigo bifuuke ntuumu za mayinja. |
| 27 |
| Ababibeeramu obuyinza bubawedde; batekemuse, baswadde. Bafuuse ng'omuddo gw'ettale, ng'omuddo ogwakamera, ng'essubi ly'oku kasolya, erikala nga terinnakula. |
| 28 |
| Mmanyi bw'otuula, bw'ogenda ne bw'odda, ko n'obusungu bw'onninako. |
| 29 |
| Olw'okubeera obusungu bw'onninako, nga n'okwekuza kwo kutuuse mu matu gange, kale nno nzija kussa empeta mu nnyindo zo n'eddobo mu kamwa ko, nkuddizzeeyo mu kkubo mwe wafuluma ng'ojja.’ |
| 30 |
| “Kati ggwe, Kezekiya, kano ke kabonero kw'onoolabira: “Mu mwaka guno ojja kulya ebyemeza byokka; mu mwaka ogwokubiri olye ebimererezi. Naye mu gwokusatu musige, mukungule, musimbe emizabbibu, mulye ebibala byakwo. |
| 31 |
| Kaawonawo asumattuse mu nnyumba ya Yuda alisimba emirandira wansi, n'assaako ebibala waggulu. |
| 32 |
| Kubanga mu Yeruzaalemu mulivaamu abalisigalawo, ne ku lusozi Siyoni bakaawonawo abasumattuse. Okutakabana kw'Omukama w'Amagye kwe kulikola ekyo. |
| 33 |
| “Kale nno Omukama kino ky'ayogera ku kabaka wa Assuri: “ ‘Tajja kuyingira kibuga kino, yadde okukirasaamu akasaale. Talikisemberera ng'akutte engabo, yadde okukituumako embibiro. |
| 34 |
| Mu kkubo eryamuleeta mw'aliddirayo; ekibuga kino talikiyingira;’ bw'agambye Omukama, |
| 35 |
| ‘nzija kutaasa ekibuga kino nkiwonye ku lwange ne ku lwa Dawudi omuweereza wange.’ ” |
| 36 |
| Mu kiro ekyo kyennyini, malayika w'Omukama yagenda mu lusiisira lw'Abassuri n'attamu abasajja akasiriivu kamu mu emitwalo munaana mu enkumi ttaano. Abantu bwe baazuukuka ku makya, bonna nga mirambo, bafu! |
| 37 |
| Sennakeribu kabaka wa Assuri n'amenya olusiisira, n'agenda. Yaddayo mu Nineve, n'abeera eyo. |
| 38 |
| Olumu bwe yali ng'asinza mu kiggwa kya Nisuroki lubaale we, batabani be Adurameleki ne Sareezeri ne bamutta n'ekitala, ne baddukira mu nsi y'e Ararati; Esari-Kaddoni mutabani we n'amusikira ku bwakabaka. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/isaiah/037.mp3
66
37