|
| 1 |
|
| Awo mu biseera ebyo, Heezeekiya n'alwala nnyo kumpi kufa. Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi, n'agendayo okumulaba, n'amugamba nti: “Mukama akugamba nti: ‘Teekateeka eby'omu maka go, kubanga ogenda kufa, tojja kulama.’ ” |
|
| 2 |
|
| Awo Heezeekiya n'akyuka n'atunula ku kisenge, ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: |
|
| 3 |
|
| “Ayi Mukama, nkwegayiridde, jjukira bwe mbadde omwesigwa mu maaso go, nga nkugondera n'omutima gwange gwonna, era nga nfuba bulijjo okutuukiriza by'osiima.” |
|
| 4 |
|
| Awo Mukama n'agamba Yisaaya nti: |
|
| 5 |
|
| “Ddayo ogambe Heezeekiya nti: ‘Mukama, Katonda wa Dawudi jjajjaawo, agamba nti: Mpulidde ky'osabye, era ndabye amaziga go. Kale nja kwongera ku bulamu bwo emyaka kkumi n'etaano. |
|
| 6 |
|
| Era ndikuwonya ggwe n'ekibuga kino Yerusaalemu, ne nkuggya mu mikono gya kabaka wa Assiriya, era ndirwanirira ekibuga kino.’ ” |
|
| 7 |
|
| Yisaaya era n'agamba Heezeekiya nti: “Kano ke kanaaba akabonero Mukama k'akuwa okukakasa ky'asuubizza: |
|
| 8 |
|
| ekisiikirize ekiri ku ssaawa ya Ahazi, ekikolera ku njuba nga bw'egenda, ajja kukizza emabega ebbanga lya madaala kkumi.” Awo enjuba n'eddayo emabega ebbanga lya madaala kkumi, ku madaala g'essaawa ge yali emaze okukkirira. |
|
| 9 |
|
| Luno lwe luyimba, Heezeekiya, kabaka wa Buyudaaya lwe yawandiika ng'amaze okuwona obulwadde bwe: |
|
| 10 |
|
| “Nali ŋŋamba nti ŋŋenda kufiira mu myaka egyawakati egy'obulamu bwange, nzigyibweko egikyasigaddeyo. |
|
| 11 |
|
| Nali ŋŋamba nti olwo nkomye okulaba Mukama mu nsi y'abalamu, siriddayo na kulaba bantu abagyeyagaliramu. |
|
| 12 |
|
| Obulamu bwange buvuddewo, era bunzigyiddwako ng'eweema y'omusumba. Obulamu bwange buzingiddwako ng'olugoye ku kyalaani ky'omutunzi. Okuva ku makya okuzibya obudde, nzigweramu ddala amaanyi. |
|
| 13 |
|
| Nsula nsinda okukeesa obudde, ng'aliibwa empologoma emeketa amagumba gange gonna. Emisana n'ekiro kyonna Katonda ali ng'ansaanyaawo! |
|
| 14 |
|
| Nabeeranga awo ne nsinda ng'ekinyonyi. Amaaso ne ganfuuyirira nga ntunuulira eyo waggulu. Ayi Mukama, mpuubadde! Ggwe jjangu onnyambe! |
|
| 15 |
|
| Nali sirina bigambo biddamu akiragidde, ng'era yennyini ye akikoze. Emyaka gyange gyonna natambulanga kasoobo nga kiva mu kwennyamira. |
|
| 16 |
|
| Ayi Mukama mu ebyo abantu mwe baggya obulamu, era mu ebyo byonna nange mwe nzigya obulamu. Ayi Mukama mponya, mbe omulamu. |
|
| 17 |
|
| Ddala kyangasa okunakuwala. Naye Ggwe, olw'okunjagala, omponyezza omugo gw'entaana, kubanga onsonyiye ebibi byange byonna. |
|
| 18 |
|
| Emagombe tewali ayinza kukwebaza tewali ayinza kukutendereza. Abafu baba tebakyayinza kusuubira mu Ggwe omwesigwa. |
|
| 19 |
|
| Abalamu be bakutendereza, nga kaakano nze bwe nkutendereza. Bakitaabwe b'abaana, babategeeza bw'oli omwesigwa. |
|
| 20 |
|
| Omponyezza, ayi Mukama. Kale tunaakuyimbiranga mu bulamu bwaffe bwonna nga bwe tukuba n'ennanga mu Ssinzizo lyo, ayi Mukama.” |
|
| 21 |
|
| Era Yisaaya yali alagidde baleete ebibala by'omutiini ebisekule, babiteeke ku jjute, Heezeekiya awone. |
|
| 22 |
|
| Era Heezeekiya yali abuuzizza nti: “Kabonero ki akalaga nga ndyambuka mu Ssinzizo?” |
|
|
|
|