Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mu biseera ebyo Merodaki Baladani, kabaka wa Babilooniya, era mutabani wa Baladani, n'awulira nga Heezeekiya bwe yali alwadde, era nga bwe yali awonye. N'amuwandiikirayo ebbaluwa, n'agimuweereza wamu n'ekirabo. |
| 2 |
| Heezeekiya n'asanyukira nnyo abaabireeta, n'abalaga ebyobugagga bwe byonna mu nnyumba ye ey'eggwanika: ffeeza ne zaabu, n'ebyakaloosa, n'omuzigo ogw'omuwendo ennyo, n'ennyumba mw'atereka ebyokulwanyisa bye, ne byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu lubiri lwe, wadde mu bwakabaka bwe bwonna ky'ataabalaga. |
| 3 |
| Awo Yisaaya omulanzi n'ajja eri Kabaka Heezeekiya, n'amubuuza nti: “Abasajja abo bagambye ki, era bavudde wa okujja gy'oli?” Heezeekiya n'addamu nti: “Bavudde mu nsi ya wala okujja gye ndi. Bavudde Babilooniya.” |
| 4 |
| Era n'amubuuza nti: “Balabye ki mu lubiri lwo?” Heezeekiya n'addamu nti: “Byonna ebiri mu lubiri lwange babirabye. Tewali kintu na kimu ku byobugagga bwange kye sibalaze.” |
| 5 |
| Awo Yisaaya n'agamba Heezeekiya nti: “Wulira Mukama Nnannyinimagye ky'agamba: |
| 6 |
| ‘Manya ng'ekiseera kijja kutuuka, byonna ebiri mu lubiri lwo, n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuuka kati, bitwalibwe e Babilooniya. Tewaliba na kimu kirisigala.’ Bw'atyo Mukama bw'agamba. |
| 7 |
| ‘N'abamu ku b'ezzadde lyo abasibukira ddala mu ggwe, balitwalibwa ne balaayibwa, baweerezenga mu lubiri lwa kabaka wa Babilooniya.’ ” |
| 8 |
| Mu ekyo Heezeekiya n'ategeeramu nti walibaawo emirembe n'obutebenkevu mu kiseera ky'obulamu bwe. N'olwekyo n'agamba Yisaaya nti: “Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde, kirungi.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/isaiah/039.mp3
66
39