×

Luganda Bible

Isaaya 4

1
Era abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu ku lunaku luli, nga boogera nti Tunaalyanga emmere yaffe ffe, era tunaayambalanga ebyambalo byaffe ffe: kyokka tutuumibwe erinnya lyo; otuggyeko ekivume kyaffe.
2
Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n'ebibala by'ensi biribawoomera nnyo abo abawonye ku Isiraeri, biriba birungi.
3
Awo olulituuka, oyo asigadde mu Sayuuni n'oyo abeera mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, ye buli muntu awandiikibwa mu balamu mu Yerusaalemi:
4
Mukama bw'aliba ng'anaalizza ddala empitambi y'abawala ba Sayuuni, era ng'amazeemu omusaayi gwa Yerusaalemi wakati mu kyo, olw'omwoyo ogw'omusango, era olw'omwoyo ogw'okwokya.
5
Era Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ekire n'omukka emisana, n'okumasamasa kw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga waggulu ku kitiibwa kyonna kulibaako ekiritimbibwako.
6
Era walibaawo eweema okuba ekisiikirize emisana eri olubugumu, n'okuba ekiddukiro era omwekwekebwa.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes