×

Luganda Bible 2003

Isaaya 4

1
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu, nga bagamba nti: “Ffe tuneenoonyezanga ebyokulya n'ebyokwambala, naye kkiriza tuyitibwenga bakyala bo, otuwonye okuswala olw'obutafumbirwa.”
2
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ebimera byonna n'emiti, Mukama bye yameza, biriba birungi era byakitiibwa, n'ebibala ebiribala mu nsi biriba birungi era biriwoomera nnyo abo abaliba bawonyeewo mu Yisirayeli.
3
Buli aliba asigaddewo mu Siyooni, Katonda gw'aliba alonze okusigala nga mulamu mu Yerusaalemu, aliyitibwa mutukuvu.
4
Mukama bw'aliba amaze okukozesa obuyinza bwe okusalira omusango abantu b'omu Yerusaalemu n'okubanaazaako ebibi byabwe, n'okuggya ku Yerusaalemu obutemu obwakikolerwamu.
5
Ku Lusozi Siyooni, ne ku bonna abakuŋŋaaniddeko, Mukama alireeta ekire n'omukka emisana, n'okutangalijja kw'omuliro ogubuubuuka ekiro. Ekitiibwa kya Katonda kiribikka ekibuga kyonna, ne kikikuuma.
6
Ekitiibwa ekyo kirisiikiriza ekibuga okukiwonya ebbugumu emisana, ne kikifuula ekifo ekyekusifu, omwekwekebwa okuwona enkuba ne kibuyaga.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes