Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti, Tuyitibwenga erinnya lyo, otuggyeko ekivume. Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala. |
| 2 |
| Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. |
| 3 |
| Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. |
| 4 |
| Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. |
| 5 |
| Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. |
| 6 |
| Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/isaiah/004.mp3
66
4