×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Isaaya 4

1
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu, nga bagamba nti, “Ffe tuneenoonyezanga emmere n'eby'okwambala, naye kkiriza tuyitibwenga erinnya lyo, otuggyeko ekivume eky'obutafumbirwa.”
2
Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n'ebibala by'ensi biriba birungi era biriwoomera nnyo abaliba bawonyeewo mu Isiraeri.
3
Buli aliba asigaddewo mu Sayuuni, n'oyo aliba asigaddewo mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, buli muntu aliwandiikiddwa mu balamu mu ab'omu Yerusaalemi.
4
Mukamamu buyinza bwe alinaaliza ddala obubi bwa abawala ba Sayuuni, era alinaaza ku Yerusaalemi omusaayi n'omwoyo ogw'okulamula, n'omwoyo ogw'omuliro.
5
Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ne ku bantu abakikuŋŋaaniddeko, ekire emisana n'omukka, n'okumasamasa kw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga ekitiibwa kya Katonda kiribikka ekibuga kyonna, ne kikikuuma.
6
Ekitiibwa ekyo kirisiikiriza ekibuga okukiwonya ebbugumu emisana, era kiriba kifo mwekwekebwa okuwona kibuyaga n'enkuba.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes