|
| 1 |
|
| “Musaasire, musaasire abantu bange,” bw'ayogera Katonda wammwe. |
|
| 2 |
|
| Mwogere eby'okusaasira Yerusaalemi, mumukoowoole nti entalo ze ziweddewo, n'obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olw'ebibi bye byonna. |
|
| 3 |
|
| Eddoboozi liwulirwa waggulu Mu lukoola nti, “Mulongoose ekkubo lya Mukama, mutereeze olugendo lwa Katonda waffe mu ddungu. |
|
| 4 |
|
| Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n'akasozi birikkakkanyizibwa; n'obukyamu buligololwa, n'ebifo ebitali bisende biritereezebwa. |
|
| 5 |
|
| n'ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.” |
|
| 6 |
|
| Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu. Ne wabaawo eyayogera nti, “N'ayogerera ki waggulu?” Omubiri gwonna muddo, n'obulungi bwagwo bwonna buliŋŋaanga ekimuli eky'omu nnimiro. |
|
| 7 |
|
| Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera; kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako; mazima abantu muddo. |
|
| 8 |
|
| Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna. |
|
| 9 |
|
| Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, weerinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n'amaanyi; liyimuse, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti Laba, “ Katonda wammwe!” |
|
| 10 |
|
| Laba, Mukama Katonda alijja ng'ow'amaanyi, n'omukono gwe gulimufugira, laba empeera ye eri naye, n'okusasula kwe kuli mu maaso ge. |
|
| 11 |
|
| Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba, alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe, n'abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa. |
|
| 12 |
|
| Ani eyali ageze amazzi mu kibatu kye, n'apima eggulu n'oluta, n'agatta enfuufu ey'oku nsi mu kigera, n'apima ensozi mu minzaani n'obusozi mu kipima? |
|
| 13 |
|
| Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo gwa Mukama, oba eyamuweerera ebigambo n'amuyigiriza? |
|
| 14 |
|
| Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo, era ani eyali amuyigirizza ekkubo ery'amazima, n'amunnyonnyola okumanya, n'amulaga ekkubo ery'okutegeera? |
|
| 15 |
|
| Laba, amawanga gali ng'ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng'efuufu eri ku minzaani, laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo. |
|
| 16 |
|
| Ne Lebanooni tamala kuba nku, so n'ensolo zaako tezimala kuba ekiweebwayo ekyokebwa. |
|
| 17 |
|
| Amawanga gonna galinga si kintu mu maaso ge; gabalibwa gy'ali nga si kintu ddala era nga kirerya. |
|
| 18 |
|
| Kale ani gwe mulifaananya Katonda? oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako? |
|
| 19 |
|
| Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n'omuweesi wa zaabu akibikkako zaabu, n'akifumbira emikuufu egya ffeeza. |
|
| 20 |
|
| Ayinze obwavu n'okuyinza n'atayinza kirabo ekyenkana awo yeeroboza omuti ogutalivunda; yeenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba ekifaananyi ekyole, ekitalijjulukuka. |
|
| 21 |
|
| Temunnamanya? Temunnawulira? temubuulirwanga okuva ku lubereberye? temutegeeranga okuva ku kutondebwa kw'ensi? |
|
| 22 |
|
| Ye wuuyo atuula ku nsi enneekulungirivu, n'abagituulamu bali ng'amayanzi; atimba eggulu ng'eggigi, era alibamba ng'eweema ey'okutuulamu: |
|
| 23 |
|
| afuula abalangira obutaba kintu; afuula abalamuzi b'ensi okuba ebirerya. |
|
| 24 |
|
| Weewaawo, tebasimbibwanga; weewaawo, tebasigibwanga; weewaawo, ekikolo kyabwe tekisimbanga mirandira mu ttaka; era abafuuwako ne bawotoka, n'embuyaga ez'akazimu ne zibatwalira ddala ng'ebisusunku. |
|
| 25 |
|
| Kale ani gwe mulinfaananya nze okumwenkana? Bw'ayogera Omutukuvu. |
|
| 26 |
|
| Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe; ani eyatonda ebyo byonna? afulumya eggye lyabyo ng'omuwendo gwabyo bwe guli; byonna abituuma amannya; olw'obukulu bw'obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako. |
|
| 27 |
|
| Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo, n'ogamba, ggwe Isiraeri, nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n'omusango gwange guyise ku Katonda wange? |
|
| 28 |
|
| Tonnamanya? Tonnawulira? Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w'enkomerero z'ensi, tazirika so takoowa; amagezi ge teganoonyezeka. |
|
| 29 |
|
| Awa amaanyi abazirika; n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. |
|
| 30 |
|
| Abavubuka nabo balizirika balikoowa, n'abalenzi baligwira ddala; |
|
| 31 |
|
| naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika. |
|
|
|
|