×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Isaaya 42

1
Laba omuweereza wange gwe mpanirira; omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira; ntadde omwoyo gwange ku ye; alireeta obwenkanya eri amawanga.
2
Talireekaana oba okuyimusa eddoboozi lye, oba okuliwuliza mu luguudo.
3
Olumuli olubetentefu talirumenya so n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza, mu bwesigwa alireeta obwenkanya.
4
Taliremererwa oba okuggwamu essuubi okutuusa lw'alisaawo obwenkanya mu nsi; n'ebizinga biririndirira amateeka ge.
5
Bw'atyo bw'ayogera Katonda Mukama, eyatonda eggulu n'alibamba; eyayanjuluza ensi n'ebyo ebigivaamu; awa omukka abantu abagiriko n'omwoyo abo abagitambulako:
6
Nze Mukama nakuyita mu butuukirivu, ndikukwata ku mukono era nnaakukuumanga, ne nkuwa okubanga endagaano y'abantu, okubanga omusana eri ab'amawanga;
7
okuzibula amaaso g'abazibe b'amaaso, okuggya abasibe mu bunnya, n'abo abatuula mu kizikiza mu nnyumba ey'ekkomera.
8
Nze Mukama; eryo lye linnya lyange; n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newakubadde ettendo lyange eri ebifaananyi ebyole.
9
Laba, ebyasooka okubaawo bituuse, n'ebiggya mbibuulira; nga tebinnaba kulabika mbibabuulira.
10
Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, n'ettendo lye okuva ku nkomerero y'ensi; mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu, ebizinga n'ababibeeramu
11
Eddungu n'ebibuga byamu biyimuse eddoboozi lyabyo, ebyalo Kedali mw'atuula; abatuula mu Seera bayimbe, leka baleekaanire waggulu nga basinziira ku ntikko z'ensozi.
12
Bamuwe Mukama ekitiibwa, era babuulire ettendo lye mu bizinga.
13
Mukama alifuluma ng'ow'amaanyi; ng'omutabazi alijja yeeswanta, n'okuleekaana ng'alangirira olutalo. Era aliwangula abalabe be.
14
Ebbanga ggwanvu nga nsirise nga siriiko kye ŋŋamba, nnabeerera awo ne nzibiikiriza; kaakano n'ayogerera waggulu ng'omukazi alumwa okuzaala; nnaawejjawejja nga nzisa ebikkowe.
15
Ndizikiriza ensozi n'obusozi, ne mpotosa emiddo gyako gyonna; era ndifuula emigga ebizinga ne nkaliza ebidiba.
16
Era ndikulembera abazibe b'amaaso mu kkubo lye batamanyi; mu mpitiro ze batamanyi mwe ndibayisa; ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe, n'ebifo ebikyamu ndibigolola. Ebyo ndibikola so siribaleka.
17
Balikyusibwa okudda emabega, balikwatibwa ensonyi nnyingi, abeesiga ebifaananyi ebyole, abagamba ebifaananyi ebisaanuuse nti, “Mmwe muli bakatonda baffe.”
18
Muwulire, mmwe abaggavu b'amatu; mutunule, mmwe abazibe b'amaaso, mulyoke mulabe.
19
Ani omuzibe w'amaaso wabula omuweereza wange oba omuggavu wa matu wabula omubaka wange gwe ntuma? ani omuzibe w'amaaso ng'oyo eyatabagana nange oba omuzibe w'amaaso ng'omuweereza wa Mukama?
20
Olaba bingi naye teweetegereza; amatu ge gagguse naye tawulira.
21
Mukama yasiima, olw'obutuukirivu bwe, okukuza amateeka n'okugassaamu ekitiibwa.
22
Naye bano be bantu abaanyagibwa ne batemulwa bo bonna bateegebwa mu bunnya, era bakwekeddwa mu nnyumba ez'amakomera; bafuuka munyago nga tewali abanunula, bafuuliddwa abanyage so tewali ayogera nti, “Bateebwe.”
23
Ani ku mmwe anaategera ekyo okutu? anaategereza n'awulira olw'ebiro ebigenda okujja?
24
Ani eyawaayo Yakobo omunyago ne Isiraeri eri abanyazi? Si Mukama? Oyo gwe twayonoona, so tebaaganya kutambulira mu makubo ge, so tebaagondera mateeka ge.
25
Kyeyava amufukako ekiruyi eky'obusungu bwe n'amaanyi ag'entalo; ne kimwokya enjuyi zonna era teyamanya; era kyamusonsomola, era teyakissaako mwoyo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes