×

Luganda Bible 2003

Isaaya 45

1
Mukama yalonda Kuuro okuba kabaka, n'amutuma okujeemulula amawanga, n'okuggyako bakabaka obuyinza. Mukama alimuggulirawo emiryango gy'ebibuga ne wataba agiggalawo. Mukama agamba Kuuro oyo nti:
2
“Ndikukulemberamu, ne nseeteeza awatali wasende. Ndimenyaamenya enzigi ez'ekikomo ne nkutula ebizisiba eby'ekyuma.
3
Ndikuwa obugagga obukwekeddwa mu kizikiza mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga Nze, Mukama, Katonda wa Yisirayeli, Nze nkuyita erinnya lyo.
4
Olw'omuweereza wange Yakobo, Yisirayeli omulondemu wange, nkuyitidde ddala linnya lyo. Nkutuumye erinnya newaakubadde nga ggwe tommanyi.
5
“Nze Mukama nzekka, teri mulala. Nze nzekka Nze Katonda. Ndikuwa amaanyi ge weetaaga, newaakubadde nga ggwe tommanyi.
6
Kino nkikoze, bonna balyoke bamanye okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, nga Nze nzekka, Nze Mukama, tewali mulala.
7
Nze nteekawo ekitangaala era Nze ntonda ekizikiza. Nze ndeeta emirembe, Nze ntondawo akabi. Nze Mukama, Nze nkola ebyo byonna.
8
Ggwe ggulu, tonnyesa obutuufu, buwanuke mu bire ng'enkuba, ensi eyasame ebufune, eryoke ebeemu eddembe awamu n'obwenkanya. Nze Mukama, Nze ntondawo ekyo.”
9
Zimusanze oyo awakanya Eyamutonda kubanga aba ng'ekibumbe ekiwakanya akibumbye. Ebbumba liyinza okubuuza alibumba nti: “Obumba ki?” Oba ekyo ky'okoze kiyinza okukugamba nti: “Tokozesezza magezi?”
10
Zimusanze oyo agamba kitaawe ne nnyina nti “Mwanzaalira ki?”
11
Mukama Omutuukirivu wa Yisirayeli, era Omutonzi we, agamba nti: “Munambuuza ebigenda okujja, n'ebifa ku baana bange, oba okundagira eky'okukola?
12
Nze natonda ensi era n'abantu abagibeeramu. Nakozesa buyinza bwange, ne mmamba eggulu, era Nze nfuga ebyo ebiririko byonna.
13
Ne Kuuro Nze mmulagidde asituke, ajje aluŋŋamye ebintu. Nditereeza amakubo gonna g'ayitamu. Alizimba buggya ekibuga kyange Yerusaalemu, era aliteera ddala abantu bange abaanyagibwa. Alikikola nga taguliriddwa, wadde okuweebwa empeera.” Mukama Nnannyinimagye ye ayogedde.
14
Mukama agamba Yisirayeli nti: “Ebyobugagga bya Misiri, n'ebyamaguzi bya Kuusi, birifuuka bibyo. N'Abaseeba, abantu abawanvu, balikwewa, ne baba babo. Balikugoberera nga basibiddwa enjegere. Balijja w'oli, ne bakuvuunamira, ne bakwegayirira nga bagamba nti: ‘Mazima Katonda ali mu ggwe, era Ye yekka, ye Katonda, tewali mulala.’ ”
15
Ayi Katonda wa Yisirayeli, ggwe Omulokozi, mazima oli Katonda eyeekweka!
16
Abakola ebifaananyi bye basinza bonna awamu we bafabenkana balikwatibwa ensonyi, ne baswazibwa.
17
Naye Mukama ye aliyamba Yisirayeli n'obuyambi obutaggwaawo. Mmwe Abayisirayeli, temuukwatibwenga nsonyi, temuuswazibwenga emirembe n'emirembe.
18
Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda. Ye yakola ensi n'agibumba. Yagikola n'aginyweza. Teyagitonda kuba njereere, yagibumba kubeeramu bantu. Ye wuuyo agamba nti: “Nze Mukama, era tewali mulala.
19
Soogereranga mu kyama, mu nsonda y'ensi ey'ekizikiza. Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti: ‘Munnoonyeze bwereere.’ Nze Mukama, njogera mazima, mbuulira abantu ebituufu.”
20
Mukama agamba nti: “Mwekuŋŋaanye mujje. Musembere we munaawoleza, mmwe abawonyeewo ku b'amawanga amalala. Abantu abatambula nga basitudde ebifaananyi eby'emiti ebyole, ne beegayirira lubaale atayinza kulokola, abo tebalina magezi.
21
Mwanjule empoza yammwe, n'abawolereza bammwe beegeyeze wamu. Ani yalanga okuva edda n'edda ekyo ekiribaawo? Si Nze Mukama? Tewali Katonda mulala okuggyako Nze, Omutuukirivu era Omulokozi. Tewali mulala, wabula Nze.
22
“Mutunuulire Nze mulokolebwe, mmwe ab'omu nsonda zonna ez'ensi, kubanga Nze Katonda, era tewali mulala.
23
Nsuubizza nga ndayira, Nze Nzennyini njogedde ekigambo kye sirijjulula nti Nze Omutuukirivu buli vviivi lirinfukaamirira, buli lulimi lulirayira Nze.
24
“Baligamba nti mu Nze Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n'amaanyi. Naye bonna abankyawa, balikwatibwa ensonyi ne baswala.
25
Mu Nze Mukama, ezzadde lyonna erya Yisirayeli mwe liriweerwa obutuukirivu era mwe liryenyumiririza.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes