×

Luganda Bible 2003

Isaaya 47

1
Mukama agamba nti: “Wanuka ku ntebe y'obwakabaka, otuule wansi mu nfuufu, ggwe Babilooni, ekibuga ky'Abakaludaaya! Wabeerako ng'omuwala embeerera: ekibuga ekitawangulwa. Naye abakulaba tebaliddamu kukutenda bunyirivu.
2
Dda ku mmengo, kwata nseeso, ose obuwunga. Weggyeeko ekiremba ku maaso fungiza engoye zo, osomoke emigga.
3
Abantu balikulaba ng'oli bukunya. Balikulaba ng'otoowaziddwa, ng'oswadde. Ndiwoolera eggwanga, era siribaako gwe ndiddiramu.”
4
Omununuzi waffe erinnya lye ye Mukama Nnannyinimagye, Omutuukirivu wa Yisirayeli. Oyo agamba nti:
5
“Tuula ng'osirise, weewunikire mu kizikiza, ggwe ekibuga ky'Abakaludaaya! Kubanga oliba tokyayitibwa Nnaabakyala w'Obwakabaka obungi.
6
Nasunguwalira abantu bange ne mbayisa ng'abatakyali bange, ne mbawaayo mu mikono gyo, n'otobasaasira n'akatono, n'abakadde n'obassaako ekikoligo kyo ekizito ennyo.
7
Wagamba nti: ‘Ndiba Nnaabakyala ennaku zonna,’ bino n'otobissaako mwoyo, era n'oteebuuza gye biriggweera.
8
“Kale kaakano wulira kino ggwe omwagazi w'amasanyu, atuula n'osalako n'ogamba nti: ‘Nze ndiwo, teri mulala wabula nze. Nze siriba nnamwandu, era sirimanya kya kufiirwa baana.’
9
Naye mbagirawo, bino byombi birikujjira ku lunaku lumu: okufiirwa abaana n'obwannamwandu, wadde obulogo bwo nga bungi butya n'obusawo bwo bwa maanyi nnyo.
10
“Weesigula ebibi by'okola era n'olowooza nti tewali akulaba. Amagezi go n'okumanya kwo bikuwubisa, n'ogamba nti: ‘Nze ndiwo, teri mulala, wabula nze!’
11
Naye olituukibwako akabi nga tomanyi gye kavudde. Oligwibwako emitawaana gy'otoyinza kuziyiza, era olituuka okuzikirira, nga tomanyiridde.
12
Kale nno kuuma obusawo bwo n'obulogo bwo obungi, bwe wateganamu okuva mu buto bwo, mpozzi wandifunamu omugaso. Oboolyawo bwandikuyamba okutiisa abalabe bo.
13
Abakuwa amagezi b'olina abangi, bakutawaanyiza bwereere! Abeetegereza ebiri ku ggulu, abasimba emmunyeenye amaaso, n'abalagula ebiribaawo nga balabira ku kuboneka kw'omwezi, kale beesimbewo bakuyambe, bakubuulire ebirikutuukako.
14
“Abo nno, baliba ng'ebisusunku, era omuliro gulibookya. Tebaliwona kibabu kya nnimi zaagwo. Teguliba nga gwa manda, gwe batuula awo ne boota.
15
Bwe batyo bwe baliba abo be watawaananga nabo, be wasuubulagananga nabo okuva mu buto bwo. Bonna balyekwatira gaabwe, ne wabulawo akuyamba.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes