|
| 1 |
|
| “Omuwala wa Babulooni embeerera, kakkana wansi otuule mu nfuufu, tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w’Abakaludaaya. Ekibuga ekitawangulwangako. Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi. |
|
| 2 |
|
| Ddira olubengo ose obutta. Ggyako akatimba ku maaso, situla ku ngoye z’oku magulu oyite mu mazzi. |
|
| 3 |
|
| Obwereere bwo bulibikkulwa; obusungu bwo bulyeraga. Nzija kuwoolera eggwanga; tewali muntu yenna gwe ndirekawo.” |
|
| 4 |
|
| Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye, ye Mutukuvu wa Isirayiri. |
|
| 5 |
|
| “Tuula mu kasirise yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya, tebakyakuyita kabaka omukazi afuga obwakabaka obungi. |
|
| 6 |
|
| Nnali nsunguwalidde abantu bange, ne nyonoonesa omugabo gwange. Nabawaayo mu mikono gyo, n’otobasaasira n’akatono. N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo. |
|
| 7 |
|
| Wayogera nti, ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’ naye n’otolowooza ku bintu bino wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo. |
|
| 8 |
|
| “Kale nno kaakano wuliriza kino, ggwe awoomerwa amasanyu ggwe ateredde mu mirembe gyo, ng’oyogera mu mutima gwo nti, ‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze. Siribeera nnamwandu wadde okufiirwa abaana.’ |
|
| 9 |
|
| Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu, eky’okufiirwa abaana n’okufuuka nnamwandu. Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu, newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira, n’eby’obufumu byo nga bigenze wala. |
|
| 10 |
|
| Weesiga obutali butuukirivu bwo, n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’ Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya, bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’ |
|
| 11 |
|
| Kyokka ensasagge erikujjira era tolimanya ngeri yakugyeggyako; n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi; akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala. |
|
| 12 |
|
| “Weeyongere nno n’obulogo bwo n’obufumu bwo obwayinga obungi, bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo. Oboolyawo olibaako kyoggyamu, oboolyawo olikolawo ekyobulabe. |
|
| 13 |
|
| Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya. Abalagulira ku munyeenye basembera, n’abo abakebera emmunyeenye, era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako. |
|
| 14 |
|
| Laba, bali ng’ebisusunku era omuliro gulibookya! Tebalyewonya maanyi ga muliro. Tewaliiwo manda ga kukubugumya wadde omuliro ogw’okwota! |
|
| 15 |
|
| Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka; b’obonyeebonye nabo b’oteganidde okuva mu buto bwo. Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye era tewali n’omu ayinza okukulokola.” |
|
|
|
|