1
Serengeta otuule mu nfuufu, ggwe omuwala wa Babbulooni, embeerera; tuula ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w'Abakaludaaya! kubanga tebaliddayo kukuyita nyanyali era mwekanasi.
2
Ddira emmengo ose obutta, ggyako akatimba ku maaso go, situla ku ngoye z'oku magulu, oyite mu migga.
3
Obwereere bwo bulibikkuka, weewaawo, ensonyi zo zirirabika; ndiwalana eggwanga, ssirirekawo muntu n'omu
4
Omununuzi waffe, Mukama ow'eggye lye linnya lye, Omutukuvu wa Isiraeri.
5
Tuula ng'osirise, yingira mu kizikiza, ggwe omuwala w'Abakaludaaya; kubanga tebakyakuyitanga Mukyala wa mu bwakabaka.
6
Nnasunguwalira abantu bange, nnavumisa obusika bwange, ne mbawaayo mu mukono gwo; tewabasaasira n'akamu; N'abakadde wabateekako ekikoligo kyo ekizito ennyo.
7
N'oyogera nti, “N'abanga mukyala ennaku zonna,” ebyo n'otobissa ku mwoyo wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.
8
Kale nno kaakano wulira kino, ggwe awoomerwa amasanyu, ggwe ateredde mu mirembe gyo, ayogera mu mutima gwo, nti, “Nze ndiwo so tewali mulala wabula nze; sirituula nga nnamwandu, oba okufiirwa abaana;”
9
naye bino byombiriri birikujjira mangu ku lunaku lumu, okufiirwa abaana n'obwannamwandu, birikujjako mu kigera kyabyo ekituukiridde, obulogo bwo newakubadde nga bungi butya, n'obusawo bwo newakubadde nga busukkiridde obungi.
10
Kubanga weesiga obubi bwo; wayogera nti, “Siriiko andaba;” amagezi go n'okumanya kwo bye bikukyamizza; n'oyogera mu mutima gwo nti, “ Nze ndiwo, tewali mulala wabula nze.”
11
Obubi kyebuliva bukujjako; tolimanya ngeri yakubweggyako, akabi kalikugwako; toliyinza kukaggyawo, okuzikirira kuli kugwako mangu ago nga totegedde.
12
Yimirira nno n'obusawo bwo n'obulogo bwo obwayinga obungi, obwakutengezzanga okuva mu buto bwo; oba nga mpozzi oliyinza okugasa, oba nga mpozzi oliyinza okusobola.
13
Abateesa naawe abayinga obungi bakukooyezza; abalaguza eggulu, abalengera emmunyeenye, abalanga eby'emyezi bayimirire nno bakulokole mu ebyo ebirikujjako.
14
Laba, baliba ng'ebisusunku; omuliro gulibookya; tebalyewonya mu buyinza bw'omuliro; teguliba lyanda lya kwota, newakubadde ekyoto eky'okutuulako.
15
Bwe bityo bwe biriba gy'oli ebyo ebyakutengezzanga; abaagulaananga naawe okuva mu buto bwo balibulubuuta buli muntu ku luuyi lwe ye; tewaliba wa kukulokola.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.