1
Muwulire kino mmwe ab'ennyumba ya Yakobo, abayitibwa Abayisirayeli, era abasibuka mu Yuda, mmwe abalayira erinnya lya Mukama era aboogera ku Katonda wa Yisirayeli, sso nga si mu mazima na mu bwesimbu,
2
ne mweyita ba mu Kibuga Ekitukuvu, abeesiga Katonda wa Yisirayeli, nga Mukama Nnannyinimagye lye linnya lye.
3
Mukama oyo abagamba mmwe nti: “Okuva edda n'edda, nalangirira ebiribaawo. Nze Nzennyini, Nze nabiranga. Nabikola mangu, ne bituukirira.
4
Kubanga namanya bwe muli abakakanyavu. Ensingo yammwe ya binywa bya kyuma, n'ekyenyi kyammwe kya kikomo.
5
Kyennava nnangirira edda ebiribatuukako gye bujja ne mbiranga mubimanye nga tebinnabaawo, muleme kugamba nti: ‘Ebifaananyi bye tusinza: ebifaananyi ebyo ebyole n'ebiweese, bye biragidde ebintu ebyo bibeewo.’
6
“Ebyo byonna mwabiwulira, era mwabiraba, byatuukirira. Kale temubikkirizza nti byali bituufu? Okuva kati nja kubabuulira ebiggya ebyali bikyakisiddwa, era bye mutamanyanga.
7
Nnaakabitondawo, si bya dda, era olwaleero lwe musoose okubiwulirako, sikulwa nga mugamba nti mwali mubimanyi.
8
Weewaawo mwali temubiwulirangako, ddala mwali temubimanyanga era nga temubitegeranga matu, kubanga namanya nga temuli beesigwa, era ng'okuva lwe mwazaalibwa, mumanyiddwa bwe muli abajeemu.
9
“Olw'okukuuma ekitiibwa kyange, ndiziyiza obusungu bwange, era ndibagumiikiriza mmwe ne sibazikiriza.
10
Mmwe nabatukuliza mu kubonaabona, nga ffeeza bw'atukulizibwa mu kabiga k'omuliro.
11
Kye nkola, nkikola ku lwange, nkikola lwa bulungi bwange, nneme kuswaza linnya lyange, wadde okuleka ekitiibwa kyange okufunibwa omulala.”
12
Mukama agamba nti: “Muwulirize bye ŋŋamba, mmwe bazzukulu ba Yakobo, Abayisirayeli be nayita. Nze wuuyo asooka era Nze wuuyo ow'enkomerero.
13
Nze Nzennyini, mwene, Nze nateekawo omusingi gw'ensi, era Nze nabamba eggulu, nga nkozesa buyinza bwange. Ensi n'eggulu bwe mbiyita, bijja okunneeyanjulira.
14
“Mukuŋŋaanire wamu mmwe mwenna, muwulire. Mu balubaale bonna, ani yalanga ebyo nga tebinnabaawo? Nze Mukama nnonze omuntu gwe njagala. Oyo alirumba Babilooni n'akikolako nga bwe njagala, n'akuba Abakaludaaya.
15
Nze Nzennyini, Nze nayogera, era Nze namuyita, ne mmulagira agende; era olugendo lwe ne nduwa omukisa.
16
“Musembere we ndi muwulire kino. Okuviira ddala mu kusooka n'okutuusa kati soogereranga mu kyama. Bye njogedde bituusa ekiseera ne bibaawo.” Era kaakano Mukama Afugabyonna antumye era atumye ne Mwoyo we.
17
Mukama Omununuzi wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli, agamba nti: “Nze Mukama, Katonda wo, akuyigiriza eby'okukugasa, era akukulembera mu kkubo ly'oba oyitamu.
18
“Singa nno wawulira ebiragiro byange! Wandibadde n'emirembe egikulukuta ng'omugga, n'obwesimbu bwo bwandibadde bwa maanyi ng'amayengo g'ennyanja.
19
Ab'ezzadde lyo bandibadde bangi ng'omusenyu, abatabalika ng'empeke zaagwo. Era nandirabye nga tebazikirira kuggwaawo.”
20
Mwanguwe muve e Babilooni, mudduke muve mu Bakaludaaya! Mukirangirire buli wantu nga muleekaana olw'essanyu, mukibunyise kituuke ensi yonna gy'ekoma. Mugambe nti: “Mukama anunudde omuweereza we Yakobo.”
21
Mukama bwe yayisa abantu be mu malungu, tebaalumwa nnyonta. Yabakulukusiza amazzi agaava mu lwazi. Kale yayasa olwazi amazzi ne gafumbukuka omwo.
22
Mukama agamba nti: “Ababi tebaba na mirembe.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.