BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| “Muwulirize kino, ggwe ennyumba ya Yakobo, mmwe abayitibwa erinnya Yisirayeli, mmwe omusaayi gwa Yuda, abalayira mu linnya ly'Omukama, abakoowoola Katonda wa Yisirayeli__ sso si mu mazima, yadde mu butuukirivu__ |
| 2 |
| mmwe abeeyita ekibuga ekitukuvu, abanyweredde ku Katonda wa Yisirayeli; erinnya lye ye Mukama w'Amagye. |
| 3 |
| Ebintu ebyayita nabirangirira dda, akamwa kange kaabiranga dda ne mbimanyisa; ate amangu ago ne nkolerawo, ne bituukirira. |
| 4 |
| Kubanga mmanyi bw'oli omukakanyavu, kubanga ebikya by'ensingo yo bya kyuma, ate ekyenyi kyo kya kikomo. |
| 5 |
| Ebintu bino kyennava mbirangirira okuva edda, nabikubuulira nga tebinnatuuka, oleme kugamba nti: ‘Lubaale wange ye yabikola; ebifaananyi byange ebyole n'ebisaanuuse bye byabiragira.’ |
| 6 |
| “Bino wabiwulira, birabe byonna. Tobikkiriza? N'okuva kati nzija kukubuulira, ebintu ebyali bikisiddwa, by'otomanyanga nako. |
| 7 |
| Byakatondebwa kati, si bbanga ggwanvu emabega. Tobiwulirangako okuggyako olwa leero; awo nno toyinza kugamba nti: ‘Mazima nabimanya.’ |
| 8 |
| Towulirangako, tomanyangako, okuva edda okutu kwo tekuggukanga; kubanga nali mmanyi bw'oli ow'enkwe, era ng'okuva lwe wazaalibwa oyitibwa mujeemu. |
| 9 |
| Olw'okubeera erinnya lyange nfuze obusungu bwange, olw'ekitiibwa kyange mbuziyizza okukutuukirira, nneme kukukutulako. |
| 10 |
| Laba, nkutukuzza, sso si nga ffeeza; nkugerezza mu kabiga ak'ennaku. |
| 11 |
| Ku lwange, ku lwange nzija kukikola, ggwe lwaki nandirese erinnya lyange ne lyonoonebwa? Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala. |
| 12 |
| “Ggwe Yakobo, mpuliriza, naawe Yisirayeli, gwe nayita: Nze wuuyo; nze mubereberye, era nze muvannyuma. |
| 13 |
| Omukono gwange gwe gwabangawo ensi, ddyo wange ye yabamba olubaale; bwe mbiyita, byonna biyimirira lumu. |
| 14 |
| “Mukuŋŋaane mwenna, muwulire. Ku abo ani yali alanze ebintu bino? Omukama amwagala; alituukiriza entegeka ye ku Babiloni; omukono gwe gulirwanyisa Abakaludeya. |
| 15 |
| Nze, nze kennyini, njogedde; mazima namuyita; namuleeta, amakubo ge gajja kumulamira. |
| 16 |
| “Musembere kumpi we ndi, muwulire kino: okuviira ddala mu masooka soogeranga nammwe mu kyama; lwe kyakolebwa, naliwo.” Kale nno Omukama antumye, wamu ne Mwoyo we. |
| 17 |
| Omukama kino ky'agamba, Omununuzi wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli: “Nze Mukama Katonda wo, nze nkuyigiriza ebinaakugasa, akukulembera mu kkubo mwe wanditambulidde. |
| 18 |
| Singa nno wali otegerezza ebiragiro byange! Olwo eddembe lyo lyandibadde ng'omugga, n'obutuukirivu bwo ng'amayengo g'oku nnyanja. |
| 19 |
| Ezzadde lyo lyandibadde ng'omusenyu, abazzukulu bo bandibadde ng'obuweke bwagwo. Erinnya lyabwe teryandikutuddwako, yadde okusangulibwawo mu maaso gange.” |
| 20 |
| Mufulume Babiloni, badduke Abakaludeya; kino mukibuulire mu maloboozi ag'essanyu, mukirangirire, mukiraalaase okutuuka ku nsonda z'ensi; mugambe nti: “Omukama anunudde omuweereza we Yakobo.” |
| 21 |
| Tebaalumwa ku nnyonta bwe yali abayisa mu ddungu; yabakulukusiza amazzi okuva mu lwazi; yayasa olwazi amazzi ne gafumbukuka. |
| 22 |
| Omukama agamba nti: “Ababi tebaba na mirembe.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/isaiah/048.mp3
66
48