Luganda Bible
|
| 1 |
| Mumpulirize, mmwe ebizinga; era mutege amatu, mmwe amawanga, nga muyima wala: Mukama yampita okuva mu lubuto; okuva munda ya mmange yayatula erinnya lyange: |
| 2 |
| era akamwa kange akafaananyizza ng'ekitala eky'obwogi, mu kisiikirize ky'omukono gwe mw'ankwese; era anfudde akasaale akazigule, mu mufuko gwe mw'ankuumidde ddala; |
| 3 |
| era yaŋŋamba nti Ggwe muweereza wange; Isiraeri gwe ndiweerwamu ekitiibwa. |
| 4 |
| Naye ne njogera nti Nateganira bwereere, amaanyi gange gaafa busa, naye mazima omusango gwange guli ne Mukama, n'empeera yange eri ne Katonda wange. |
| 5 |
| Era kaakano ayogera Mukama eyammumba okuva mu lubuto okuba omuweereza we, okumukomezaawo nate Yakobo era Isiraeri akuŋŋaanyizibwe gy'ali: (kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama, era Katonda wange afuuse amaanyi gange:) |
| 6 |
| weewaawo, ayogera nti Ekigambo kyayinga obwangu ggwe okuba omuweereza wange okugolokosa ebika bya Yakobo n'okulokola abawonye ku Isiraeri: era ndikuwaayo okuba omusana eri ab'amawaaga, obeerenga obulokozi bwange okutuusa ku nkomerero y'ensi. |
| 7 |
| Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wa Isiraeri, era Omutukuvu we, ng'agamba oyo abantu gwe banyooma, oyo eggwanga gwe likyawa, omuweereza w'abafuga, nti Bakabaka baliraba ne bagolokoka; abalangira baligolokoka ne basinza; ku lwa Mukama omwesigwa, Omutukuvu wa Isiraeri eyakulonda. |
| 8 |
| Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkwanukulidde mu biro eby'okukkirizibwamu, era nkuyambye ku lunaku olw'okulokokeramu: era ndikuwonya ne nkuwaayo okuba endagaano eri abantu, okugolokosa ensi, okubasisa obusika obwazika: |
| 9 |
| ng'obuulira abo abasibiddwa nti Mufulume; abo abali mu kizikiza nti Mwerage. Banaaliiranga mu makubo, ne ku nsozi zonna ez'obweru kwe kunaabanga amalundiro gaabwe. |
| 10 |
| Tebaalumwenga njala newakubadde ennyonta; so n'olubugumu teruubakwatenga newakubadde omusana: kubanga oyo abasaasira anaabakulemberanga era awali enzizi z'amazzi gy'anaabatwalanga. |
| 11 |
| Era ndifuula ensozi zange zonna okuba ekkubo, n'enguudo zange zirigulumizibwa. |
| 12 |
| Laba, bano baliva wala: era, laba, bano baliva obukiika obwa kkono n'ebugwanjuba; era bano mu nsi y'e Sinimu. |
| 13 |
| Yimba, ggwe eggulu; era sanyuka, ggwe ensi; era mubaguke okuyimba, mmwe ensozi: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, era alisaasira ababe ababonyaabonyezebwa. |
| 14 |
| Naye Sayuuni n’ayogera nti Mukama andese, era Mukama anneerabidde. |
| 15 |
| Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, obutasaasira mwana wa nda ye? weewaawo, abo bayinza okwerabira, naye siikwerabirenga ggwe. |
| 16 |
| Laba, nkuyoze ku bibatu by'emikono gyange; ebisenge byo biri mu maaso gange bulijjo. |
| 17 |
| Abaana bo baanguwa; abaakuzikiriza n'abaakuzisa balikuvaamu. |
| 18 |
| Yimusa amaaso go enjuyi zonna olabe: abo bonna beekuŋŋaanya wamu ne bajja gy'oli. Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tolirema kubambala bonna ng'eky'obuyonjo, n'obeesiba ng'omugole. |
| 19 |
| Kubanga ebifo byo ebyazika ebyalekebwawo n'ensi yo eyazikirizibwa, mazima kaakano olibayingirira obufunda abatuulamu, n'abo abaakulyanga baliba wala. |
| 20 |
| Abaana ab'okufiirwa kwo balyogerera mu matu go nti Ekifo kinnyingiridde obufunda: mpa ebbanga ntuule. |
| 21 |
| N'olyoka oyogerera mu mutima gwo nti Ani eyanzaalira bano, kubanga nafiirwa abaana bange, era ndi omu, eyagobebwa, era abulubuutira eruuyi n'eruuyi? era ani eyalera bano? Laba, nasigala omu; bano, baali bali ludda wa? |
| 22 |
| Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndigololera amawanga omukono gwange, ne nsimbira abantu ebendera yange: awo balireeta batabani bo mu kifuba kyabwe, ne bawala bo balikongojjerwa ku bibegabega byabwe. |
| 23 |
| Era bakabaka baliba bakitaawo abalera, ne bakaddulubaale baabwe baliba bannyoko abayonsa: balikuvuunamira n'amaaso gaabwe, ne bakomba enfuufu ey'omu bigere byo; kale olimanya nga ndi Mukama, n'abo abannindirira tebalikwatibwa nsonyi. |
| 24 |
| Omunyago guliggibwa ku b'amaanyi, oba abawambibwa olw'ensonga baliteebwa? |
| 25 |
| Naye bw'atyo bw'ayogera Mukama nti N'abo ab'amaanyi be baawamba baliggibwawo, n'omunyago gw'ab'entiisa guliteebwa: kubanga ndiyomba n'oyo ayomba naawe, era ndirokola abaana bo. |
| 26 |
| Era abo abakujooga ndibaliisa ennyama yaabwe bo; era balitamiira omusaayi gwabwe bo, nga n'omwenge omuwoomerevu: n'abalina omubiri bonna balimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo, era omununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/isaiah/049.mp3
66
49