×

Luganda Bible 2003

Isaaya 50

1
Mukama agamba nti: “Ebbaluwa gye nawandiika okugobera ddala nnyammwe, eruwa? Oba ali ludda wa ammanja, gye nabatunda mmwe mube abaddu? Mwatundibwa lwa bibi byammwe, era okusobya kwammwe kwe kwagobya nnyammwe.
2
Bwe najja okubawonya lwaki saasangawo muntu n'omu? Nayita ne wabulawo ampitaba. Omukono gwange gwe mumpi ne gutasobola kubanunula? Oba mbuliddwa amaanyi nga sisobola kuwonya? Mulabe, bwe nkabukira ennyanja, ekala. Emigga ngifuula eddungu, ebyennyanja byamu olw'okubulwa amazzi, ne bifa era ne biwunya.
3
Eggulu nnyinza okuliddugaza, ne liba nga lye nnyambazza ebikutiya okukungubaga.”
4
Mukama Katonda anjigiriza bye nnaayogera okugumya oyo akooye. Anzuukusa buli nkya, n'anzigula amatu okuwulira by'aba agenda okunjigiriza.
5
Mukama Afugabyonna anzigudde amatu ne sijeema kudda nnyuma kumuvaako.
6
Nawaayo amabega gange eri abankuba, n'amatama gange eri abankuunyuula ekirevu. Saakweka maaso gange abo abanswaza ne bampandira amalusu.
7
Naye obujoozi bwabwe sibufaako, kubanga Mukama Afugabyonna ajja kunnyamba. Nneevaamu ne mbugumira, nga mmanyi nti sijja kuswala.
8
Oyo ampolereza ali kumpi. Ani alina ky'anvunaana? Yeesimbewo tuwoze. Anneesimbyemu ye ani? Kale asembere we ndi.
9
Mukama yennyini Afugabyonna wuuno ye antaasa, ate ani alinsalira omusango okunsinga? Bonna balikaddiwa ng'ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje.
10
Buli omu mu mmwe assaamu Mukama ekitiibwa era agondera ebigambo by'omuweereza we, ne bw'atambulira mu kizikiza nga talina kitangaala, yeesige Mukama, era anywerere ku Katonda.
11
Mulabe, mmwe mwenna abakola enkwe okuzikiriza bannammwe, mmwe mulyezikiriza mwekka mu nkwe zammwe. Ekyo Mukama yennyini ye alikituukiriza, ne mufiira mu bulumi.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes