BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Omukama kino ky'agamba: “Ebbaluwa ya nnyammwe ey'obugobe eruwa kwe namugobera? Oba ku bawozi bange ani gwe nabaguza? Olw'okubeera ebibi byammwe kyemwava mutundibwa; olw'emisango gyammwe nnyammwe kyeyava agobebwa. |
| 2 |
| Kale lwe najja, lwaki tewaali muntu n'omu? Bwe nakowoola, lwaki waabulawo annyanukula? Omukono gwange guyimpawadde nnyo, tegusobola kununula? Mbuliddwa maanyi gabawonya? Mulabe, bwe mboggola, ennyanja ne ngikaza; emigga ne ngifuula eddungu; ebyennyanja byamu olw'ebbula ly'amazzi bivunda ne bifa ennyonta. |
| 3 |
| Olubaale ndwambaza enzikiza, ne ndukolera ekikutiya nga kye kizibawo kyalwo.” |
| 4 |
| Omukama yampa olulimi lw'abayigirizwa, mmanye ebigambo ebinyweza ayenjebuse; okutu kwange akuzuukusa buli makya kuwulire ng'okw'abayigirizwa. |
| 5 |
| Omukama Katonda yaggula amatu gange; nange saajeema, sadda mabega. |
| 6 |
| Amabega gange nagawa abankuba, n'emba nazikyukiza abankuunyuula ekirevu; amaaso saagakweka bivumo na kufujjirwa malusu. |
| 7 |
| Kubanga Omukama Katonda annyamba, kyenvudde nnema okuswala. N'olw'ekyo obwenyi bwange mbwegeseewo ng'olwazi, era mmanyi sijja kuswazibwa. |
| 8 |
| Oyo annejjeereza ali kumpi, ani ananvunaana? Kale tugasimbagane. Ani anvunaana omusango? Kale ansemberere. |
| 9 |
| Omukama Katonda wuuyo y'annyamba, ani anansingisa omusango? Anti bonna bajja kuggweerera ng'ekyambalo; ennyenje zigenda kubalya. |
| 10 |
| Ani mu mmwe atya Omukama, awuliriza eddoboozi ly'omuweereza we? Ani atambulira mu kizikiza, atalina kitangaala? Oyo yeesige erinnya ly'Omukama, yeesigame ku Katonda we? |
| 11 |
| Naye nno mmwe mwenna abakoleeza omuliro, abenyweza n'ebitawuliro by'omuliro, mutambulire mu kitangaala ky'omuliro gwammwe ne ku bitawuliro bye mukoleezezza. Kino kye mujja okufuna okuva mu mukono gwange: mugenda kugalamira mu bibonoobono. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/isaiah/050.mp3
66
50