×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Isaaya 50

1
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Ebbaluwa ey'okugoba nnyammwe eri ludda wa gye nnamugobya? Oba aluwa ku abo abammanja gwe nnabaguza? Laba, olw'obutali butuukirivu bwammwe kyemwava mutundibwa, era okusobya kwammwe kwe kwagobya nnyammwe.
2
Lwaki bwe nnajja tewaali muntu n'omu? Bwe nnayita lwaki tewaali muntu n'omu annyanukula? Omukono gwange guyimpawadde ne gutayinza n'akatono kununula? Oba sirina maanyi n'akatono gakuwonya? Laba olw'okunenya kwange nkaliza ennyanja, emigga ngifuula eddungu; ebyennyanja byamu ne biwunya, obutabaawo mazzi, ne bifa ennyonta.
3
Nnyambaza eggulu obuddugavu, era ndibikkako ebibukutu.”
4
Mukama Katonda ampadde olulimi lw'abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n'ebigambo oyo akooye; anzuukusa buli nkya, azuukusa okutu kwange okuwulira ng'abo abayigirizibwa.
5
Mukama Katonda aggudde okutu kwange, ne ssiba mujeemu ne ssikyuka kudda mabega.
6
Nnawaayo omugongo gwange eri abakuba, n'amatama gange eri abo abakuunyuula ekirevu; ssaakweka maaso gange eri abo abansekerera n'eri abo abanfujjira amalusu.
7
Kubanga Mukama Katonda yannyamba; kyennava nnema okuswazibwa; kyenvudde nteeka amaaso gange ng'ejjinja ery'embaalebaale, era mmanyi nga sirikwatibwa nsonyi.
8
Ali kumpi ampeesa obutuukirivu; ani aliyomba nange? tuyimirire ffembi. Omulabe wange ye ani? ansemberere.
9
Laba, Mukama Katonda ye alinnyamba; ani oyo alinsalira omusango? laba, bonna balikaddiwa ng'ekyambalo; ennyenje eribaliira ddala.
10
Ani ku mmwe atya Mukama, agondera eddoboozi ly'omuweereza we? atambulira mu kizikiza, nga talina musana, yeesige erinnya lya Mukama, era yeesigame ku Katonda we.
11
Laba, mmwe mwenna abakuma omuliro, abeesiba emimuli enjuyi zonna; mutambulire mu nnimi z'omuliro gwammwe, ne mu mimuli gye mukoleezezza. Ekyo kye muliweebwa mu mukono gwange; muligalamira nga munakuwadde.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes